TOP

Eyali Pulezidenti yeekubye essasi ye yetta

Added 18th April 2019

EYALI Pulezidenti wa Peru, Alan García 69, yeekubye essasi ne yetta poliisi bw’ebadde egenda okumukwata ng’emuvunaana okwenyigira mu kulya enguzi.

Yettidde mu maka ge mu kibuga Peru ku Lwokusatu.

Agambibwa nti, we yabeerera Pulezidenti wakati wa 2006 ne 2011 yalya enguzi okuva ku kkampuni ya Brazil enzimbi emanyiddwa nga Odebrecht n'eweebwe kontulakiti ezitali zimu.

Pulezidenti wa Peru aliko kati Martín Vizcarra yaweerezza obubaka obukubagiza aba famire y'omugenzi n'agamba nti, naye yabadde anyoleddwa nnyo.

Kigambibwa nti bwe yalengedde aba poliisi ebweru w'amaka ge ne yeekuba amasasi ku mutwe era yatwaliddwa mu ddwaaliro nga biwalattaka ttiimu y'abasawo 27 n'egezaako okutaasa obulamu bwe ne kitasoboka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.