TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Makerere University esabye Gav't egyongere obuwumbi 47

Makerere University esabye Gav't egyongere obuwumbi 47

Added 18th April 2019

YUNIVASITE y’e Makerere esabye gavumenti egyongere obuwumbi 47 ziyambe mu kukola ku by’okusasula emisaala gy’abakozi n’okutereeza emirimu gy’okunoonyereza ku bintu ebitali bimu mu mwaka 2019/2020.

 Barnabas Nawangwe, omumyuka wa Cansala wa Makerere University

Barnabas Nawangwe, omumyuka wa Cansala wa Makerere University

Omumyuka wa cansala wa yunivasite eno, Polof. Barnabas Nawangwe, yagambye nti ensimbi zino zigenda kuyamba yunivasite okukola okunoonyereza ku bintu ebitali bimu ebigasa eggwanga n'okusasula abakozi emisaala.

Yabadde ali mu kakiiko ka palamenti ak'ebyenjigiriza  akaabadde kali mu kwekenenya embalirira ya yunivasite eno ey'omwaka 2019/20. 

Nawangwe yagambye nti waliwo ebintu bingi ebyetaaga okunoonyerezaako n'agamba nti yunivasite yetaaga obuwumbi 50 buli mwaka okukola ku kunoonyereza kyokka nga gavumenti etegeka kubawa 30 zokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...