TOP

'Temwongeza bbeeyi ya nnyama ku nnaku enkulu'

Added 18th April 2019

Abatemi b'ennyama abeegattira mu kibiina kya, “Kampala Butcher Trader’s Association” (KABUTA) ekikulemberwa Sennabulya balabudde bannaabwe obutamala gongeza bbeeyi ya nnyama mu biseera bino ng’agamba nti tekikoma kulemesa bakasitoma baabwe kubagulako nnyama kyokka kireetawo n’okuvuganya okuteetaagisa okukosa entambuza y’emirimu gyabwe.

 Ssenabulya(kuk kono)  n'abatwala ebyokwerinda e Kabowa gye buvuddeko mu kimu ku bikwekweto by'okukwata abatemi b'ennyama abawa bakasitoma babwe ebipimo ebitaweze.

Ssenabulya(kuk kono) n'abatwala ebyokwerinda e Kabowa gye buvuddeko mu kimu ku bikwekweto by'okukwata abatemi b'ennyama abawa bakasitoma babwe ebipimo ebitaweze.

 

ABATEMI b'ennyama balabudde bannaabwe abateekateeka okutondawo emidaala egimenya amateeka mu bitundu bya Kampala eby'enjawulo wamu n'okweyambisa amayinja ga minzaani ag'ebicupuli  okubba bakasitoma babwe mu biseera by'ennaku enkulu (Paasika).

Bano abeegattira mu kibiina kya, "Kampala Butcher Trader's Association" (KABUTA) ekikulemberwa Sennabulya (ssentebe waakyo) era balabudde bannaabwe obutamala gongeza bbeeyi ya nnyama mu biseera bino.  Yagambye nti kino  tekikoma ku kulemesa bakasitoma baabwe kubagulako  nnyama kyokka wabula kireetawo n'okuvuganya okuteetaagisa okukosa entambuza y'emirimu gyabwe.

"Tugenda kukolaganan'ebitongole byokwerinda okuli poliisi n'abakulira ebitongole ebirondoola omutindo gw'ennyama okukakasa nga bakasitoma baffe bafuna ebipimo ebituufu  mu ssente zaabwe n'okukakasa ng'obubbi bw'ebisolo  obutera okubalukawo mu biseera by'ennaku enkulu tebubeerawo  kubanga kizuuliddwa ng'abamu ku bannaffe abatera okutondawo emidaala egy'ekimpatiira mu biseera bino be babusibyewo," Ssenabulya bwe yategeezezza ng'ayogerako eri bammemba b'ekibiina kya KABUTA abakkaanyizza ku ky'okutunda ennyama ku miwendo egifaanagana mu biseera bya Paasika.

Yabyogeredde ku ofiisi z'ekibiina kino e  Wandegeya ku Lwokusatu era wano abakinjaaji we bakkaanyirizza okutunda ennyama ku bbeeyi ey'awamu (wakati wa 12,000/- ne 13,000/-). 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...