TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Luwalira yennyamidde ku ttemu erikudde ejjembe mu ggwanga

Bp. Luwalira yennyamidde ku ttemu erikudde ejjembe mu ggwanga

Added 18th April 2019

OMULABIRIZI ‘e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira awadde obubaka bw’amazuukira n’alaga okwennyamira ku ttemu erikolebwa mu ggwanga ne bakola okunoonyereza kyokka ne kutavaamu lipooti ennyonnyola.

Teri kubba kutono buli abbye sente z'eggwanga entono n'ennyingi bonna babbi okwo bw'ogattako ekibba ttaka ekiri mu ggwanga wennyamira ate bw'otunuulira ekibba ttaka ekiriwo oyinza okulowooza nti batuukiriza njogera egamba nti bw'okiwakanya obeera olamuza magombe.

Bino Omulabirizi Luwalira abitadde mu bubaka bw'amazuukira bw'aweerezza n'agamba nti okuzza emisango naddala ng'abantu bakozesa kompyuta ne tekinologiya ow'ekikugu byeyongedde  okwo n'gattako abantu abali mu bifo ebyawaggulu mu gavumenti ng'abamu baboogerera amafukuule ne batuuka n'okufiirwa ebifo bye balimu.

Agambye nti abantu bonna ku mazuukira gano basaana okwekwata obubaka Yesu bw'awa mu Yokaana 14:27 EMIREMBE GIBEERE NAMMWE… 

Yagambye nti kyennayamiza okulaba ng'obukuubagano n'akavuyo weekali mu ggwanga ng'abakuumaddembe bakalinamu omukono nga kino kiva ku ntegeka z'okulonda kwa 2021 okusuubirwa eivuddeko enjawukana na buli muntu okweyagaliza yekka ne kivaako obunkenke okweyongera mu ggwanga.

Agambye nti bw'otunuulira ekyagudde ku muliraano e Sudan ne mu mawanga amalala byennyamiza ‘abazira bagudde!'

Awadde abantu amagezi okunywerera ku bubaka Yesu bwe yawa abayigirizwabe ng'amaze okuzuukira buli muntu ayagalize munne emirembe newankubadde nga waliwo amayengo mu bulamu.

Annyonnyola nti ku nsi tewali munnabyabufuzi oba omugagga ffugge yenna ayinza okukuwa obulamu obw'omwoyo okuggyako Yesu Kristo singa obeera ng'osazeewo okumukkiriza n'omuyingiza mu bulamubwo.

Yasabidde abalwadde okuli sipiika Rebecca Kadaga, Katikkiro wa Uganda eyawummula Polof. Apolo Robinson Nsibambi n'Omulabirizi Hannington Mutebi ali mu kujjanjabibwa e Bungereza.

Agumizza abaviiriddwako abaagalwa babawe nga Nabagereka Syliva Nagginda eyafiiriddwa kitaawe John Luswata n'amaka g'omugenzi Nelson Ssebuggwawo bonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.