TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka avuddeyo ku binyigiriza abantu mu bubaka bwe obwa Paasika

Kabaka avuddeyo ku binyigiriza abantu mu bubaka bwe obwa Paasika

Added 19th April 2019

KABAKA Ronald Mutebi ll, avuddeyo ku binyigiriza abantu n’agamba nti, “Tunakuwala nnyo okuwulira ng’abantu baffe bangi babundabunda n’okusengulwa mu bifo byabwe.

 Kabaka ng'awuubira Obuganda

Kabaka ng'awuubira Obuganda

Mu bubaka bwe obwa Paasika, Ssaabasajja yennyamidde olw'okuba ng'abasengula abantu be balina obuyinza.

"Okusengula abantu kikolebwa abalina obuyinza bwe tulowooza nti bukozesebwa mu bukyamu. Kino si kye kyaleeta Omulokozi wabula okununula abantu ffenna, alina obuyinza n'atalina", bwe yategeezezza.

OBUBAKA BWA KABAKA MU BUJJUVU

 

Tuyozaayoza abantu ba Katonda mwenna okutuuka ku Mazuukira g’omwaka guno. Twebaza Mukama olw’ekisa kye ekitusobozesezza okubeera abalamu n’okwongera okumutendereza buli bbanga. Tutuuse ku Mazuukira g’omwaka guno nga waliwo bingi bye twebalizaako Katonda. Ate waliwo n’ebirala bye tumusaba atusaasire tubivvuunuke mu mirembe. Tusaba Omukama atwongere okunyweza obumu mu Bwakabaka ne mu Uganda yonna. Amazuukira gatuyambe okwefumiitiriza ku nsonga y’okubonaabona kw’Omulokozi. Ate naffe kituwe okwebuulirira ku ngeri gye tweyisaamu mu bantu bannaffe, n’okukkiriza okubonabona n’okwewaayo ku lw’abalala, naddala be tuweereza. Buli lwe tujjukira Amazuukira g’Omulokozi, tujjukira okununulwa kwaffe mu buli mbeera. Kye tuva tukubiriza abantu baffe naddala abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo ensonga y’okununulwa n’okununula abo bonna be bakulembera okuva mu bwavu, obulyake, obutasoma n’okuyigganyizibwa okukolebwa ku abo bonna abalwanirira eddembe lyabwe mu byobufuzi, ebyenfuna ne mu bulamu obwabulijjo. Tusabe nnyo Omukama, atuyise mu kyeya kye tulimu kati era tukubiriza abantu baffe okubeera obulindaala okusinga awo we kyetaagisiza. Tubaagaliza Amazuukira ag’essanyu n’emirembe. Ronald Muwenda Mutebi II KABAKA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...