TOP

Abakyala abagagga temunyooma babbammwe

Added 22nd April 2019

Omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Ssembabule, Hanifa Kawooya akubirizza abakyala abagagga bakomye okunyooma babbaabwe wabula babawe ekitiibwa kuba emabega w’omukyala akulaakulana ebaayo omusajja ow’amaanyi.

 Omubaka Hanifa Kawooya ng’ayogera ku mukolo gw’abakyala.

Omubaka Hanifa Kawooya ng’ayogera ku mukolo gw’abakyala.

Kawooya eyeetuuma, "Yellow Girl" yagambye nti abakyala abamu bwe bagaggawala okusinga babbaabwe babakikinalako n'okubayisaamu olugaayu, kye yagambye nti kinyiiza abasajja, kissa ekitiibwa ky'amaka era kitta n'obufumbo.

Bino yabyogeredde ku Kyankoole pulayimale mu ggombolola y'e Kidera mu disitulikiti y'e Buyende ku Lwomukaaga, ku mukolo gw'olunaku lw'abakyala, gye yabadde omugenyi omukulu.

"Nze nnina ssente, era nze ssentebe w'akabondo ak'abakyala mu Palamenti ya Afrika.

Naye bwe ntuuka awaka ekitiibwa ekyo n'engoye ez'ebbeeyi mbyeyambula ne mufukaamirira," bwe yagambye, abantu ne bamukubira enduulu.

Omubaka omukazi owa Buyende, Veronica Babirye Kadogo eyaleese Hanifa, yawadde abakyala amagezi balekere awo okunoba, bakulekere basajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...

Omusumba atonedde Poliisi e...

Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...