TOP

Abatemu basse omuwala lwa nnusu 500/-

Added 23rd April 2019

Abatemu balumbye omuwala mu nnyumba ye ne bamutta. Asia Naikoba, 26 ng’abeera Wampala mu divizoni y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe ye yattiddwa mu kiro ekyakeesezza Paasika.

Omulambo gwe gwazuuliddwa baliraanwa be ne bba bwe baamenye oluggi lw'omuzigo mw'abadde asula.

Abatuuze baategeezezza nga bwe baasembye okumulabako ku Lwomukaaga akawungeezi ng'ava kugula nkoko gy'anaalya ku Paasika.

Omukyala eyategeerekese nga Ssenga Annet yategeezezza nti, "Nze akawungezi k'eggulo nnalabye Naikoba ng'ali ne Ibanda era olwamubuuzizza obumuluma, n'akyama we nkolera n'antegeeza ng'abasajja ababiri be yabadde nabo bwe bamukanda ssente nnusu 1,000/- ng'alinawo 500/- era ne mmuwa 500/- ebirala era olwazimuwadde n'aziwa Ibanda olwo omugenzi n'akwata enkoko ye n'agenda ewuwe wabula Ibanda ne munne baasigadde bamugoberera," Ssenga Annet bwe yagambye.

Abaserikale ba poliisi okuva e Nakibizzi n'e Njeru baakutte Gerald Ibanda, 25, ne Steven Kato ne baggalirwa ate omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Jinja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.