TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya 'Togikwatako': Ayagala basazeemu ensala y'abalamuzi 3

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya 'Togikwatako': Ayagala basazeemu ensala y'abalamuzi 3

Added 23rd April 2019

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi basatu gye baawadde mu kujulira ku kuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu ayagala okwesimbawo ku bwapulezidenti.

 Male Mabirizi ng'ali mu kkooti

Male Mabirizi ng'ali mu kkooti

Mabiriizi mu musango gw'atutte mu kkooti ensukkulumu, ayagala esazeemu esala ya Ssabalamuzi Bart Magunda Katuleebe, Stella Alachi Amoko  ne Jotham Tumwesigye. 

Ensonga Mabiriizi kwe yeesigamye ng'awaaba, etteeka liragira nti Omulamuzi gw'abeera mulwadde mu mubiri obwa mu bwongo takkirizibwa kuwulira musango n'aguwaako ensala.

Ssabalamuzi Katureebe yasinzidde mu kkooti n'ategeeza nti yabadde mulwadde ng'amaaso gamuluma ng'ategeka kuddayo mu ddwaliro bamulongoose.

Ategeezezza nti Katureebe ne Museveni baamukwano nnyo era kino kyawaliriza Katuleebe okusenguka gye yali abeera e Nyrugulu n'adda e Kiruhura nga kati muliraanwa wa Museveni.

Bw'akyukidde Omulamuzi Amoko n'ategeeza nti ono bba Amoko Idule ye mubaka wa Uganda mu mukago gwa African Union ekitegeeza nti mukyalawe yali tayinza kusalira Museveni musango ne gumuzinga ng'ate yeeyawa bba omulimu, Ng'atuuse ku Mulamuzi Tumwesigye, agambye nti ono mukwano gwa Museveni nnyo gw'aludde nga bakolagana era siniya baasoma bonna mu Ntare School.

Kkooti ensukkulumu eyatudde e Kololo nga April 18, 2019 Abalamuzi okwabadde Ssabalamuzi Bart Katureebe, Jotham Tumwesigye, Rubby Opio Aweri ne Stella Arach Amoko baagobye okujulira nga bagamba etteeka lyayisibwa mu butuufu.

Abalala okuli; Paul Mugamba, Eldad Mwangusya ne Lillian Tibatemwa-Ekirikubinza baasaze nga basazaamu ensala ya kkooti etaputa Ssemateeka nga bagamba nti okuggya ekkomo ku myaka kyali kikyamu.

Omusango Mabirizi aguwaabye ku kkooti ensukkulumu e Kololo n'ategeeza nti erina Abalamuzi 11 basobola okwerondako musanvu bokka ne bawulira okusaba kwe era singa abasatu baawawaabira banajja okugutuulamu waakukiwakanya.

Amyua omuwandiisi wa kkooti Godfrey Opifeni yaayingizizza omusango gwa mabiriizi mu bitabo bya kkooti. Alinda lunaku kwe banaaguwulirira wabula asabye baguwulire mu bwangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....