TOP

Ebiruke bitugobyeko obwavu

Added 24th April 2019

Ebiruke bitugobyeko obwavu

 Abamu ku bammemba ba Kiwanga Winners Development Group nga baluka emikeeka n’ensawo.

Abamu ku bammemba ba Kiwanga Winners Development Group nga baluka emikeeka n’ensawo.

Engeri nnyingi mw'osobola okuyita okweggya mu bwavu ne weekulaakulanya era abantu bangi naddala mu byalo, ekibajjira mu bwongo kya kutandikawo ebibiina bye balaba nti bye bijja okubabbulula.

Norah Bakkabulindi, omutandisi w'ekibiina ky'abakyala ekya Kiwanga Winners Development Group e Kiwanga - Mukono alaga entandikwa yaabwe ne bwe batuuse ku kwekulaakulanya nga bayita mu kukola ebyemikono. Ng'oggyeeko eky'okuba nti kibiina kya bakyala, bano baalaba obwetaavu bw'abasajja mu kibiina kyabwe era ne babayingiza.

Kino kisikkirizza n'abamu ku bantu okuva mu byalo ebibaliraanye okubeeyungako olwo ne bagaziya amagoba gaabwe.

ENTANDIKWA Bakkabulindi agamba nti, "Mu 2010, nali mu kibiina ekimu ekiwozi ky'ensimbi e Kiwanga nga twewola n'okuterekanga 2,000/- buli wiiki.

Ekiseera kyatuuka nga ndaba tumenyeka olw'engeri abamu gye balyazaamanyanga ssente zino, olwo ffe abeesigwa ne tugwa mu loosi ey'okubasasulira. Natandika okutuukiriranga abamu ku bakyala ne mbannyonnyola ku ngeri gye tuyinza okuva mu kibiina ekyali kituwola kuba kyali kituzza emabega, ne mbawa ekirowoozo ky'okutandikawo ekibiina ekyaffe nga tutereka 2,000/- buli wiiki okutuusa lwe zinaawera olwo tutandike okuzeewola nga tuzzaamu amagoba ga bitundu 5 ku 100. Abasinga baakikkiriza era twatandika abakyala 26 ne tutandika okutereka ku akawunti yange.

Twaterekera ebbanga lya myaka esatu era okutuuka mu 2013 nga n'okuwera tuweze, twalina obukadde 4 ne tutandika okuzeewola nga bwe twongera mu bizinensi zaffe, n'okuwola bonna abaabanga bazeetaaze ssinga baabeeranga n'omusingo ogugya mu ssente ezo, era bano baakomyangawo n'amagoba ga bitundu 10 ku 100 era tetwadda mabega.

TWENYIGIRA MU KULUKA N'EBINTU EBYENJAWULO Mu 2016, twafuna ekirowoozo okutandika okukola ebintu eby'enjawulo bye tusobola okutunda okufunamu ensimbi era awo we twalowooleza mu kutandika okukola keeki, okuluka ensawo, emikeeka n'ebibbo era bino bwe twabitandika nga tubikolera ku ‘wooda'. Mulimu bye twali tutamanyi kukola era twesondamu 5,000/- ez'okuwa mukyala Masibo okutuyigiriza engeri gye tukola keeki n'atuyigiriza okumala emyezi ebiri.

Twasooka ne tufiirwa olw'okwagala okusikiriza bakasitoma nga tutunda ku bbeeyi ya wansi, wabula oluvannyuma twafuna omukugu eyatunnyonnyola nti ekintu kasita okikolera ku mutindo ogusaanidde, kitwalibwa ne bwe kiba ku ssente eziwerako, olwo kwe kuzibuka amaaso ne keeki ne tutandika okuzifunamu ensimbi eziwera. Twatandika okukola keeki ze basasulidde eziri wakati wa 45,000/- ne 80,000/- era kati ku keeki ennamba tutereka amagoba ga 25,000/-.

Emikeeka tugifunamu naddala ssinga wabaawo emikolo egiba gitegekeddwa ku kyalo era nga tugitunda wakati wa 35,000/- ne 50,000/- ne tuwunzika ne tugifunako 18,000/- buli gumu. Amagoba gaffe gaalinnya kuba abakyala baayongera okutweyungako era kati tuwera bammemba 67 n'abaami babiri nga bano batuyamba okukola emirimu egimu egy'amaanyi gye tutayinza ffekka.

TULUKA ENSAWO Twagattako okutunda ensawo eza wuzi era nga zino tuzitunda 20,000/- buli emu. Tufumba n'emmere ku mikolo egiba gitegekeddwa ku kyalo kyaffe. Ng'oggyeeko bino, tulinamu abakyala abakuze abeegulidde erinnya mu kubuulirira abantu ab'enjawulo okuli abavubuka n'abakulu ababa baweddemu essuubi ku nsonga ez'enjawulo era abafunamu bagaba akasiimo omubeera; embuzi, enkoko ne ssente enkalu nga bw'aba asobodde nga ne bino nabyo tubitunda ku mikolo ne tufuna ensimbi ze tutereka ku akawunti yaffe

FIIZI TEKIKYALI BUZI BU BWANGE - MULINDWA George Mulindwa, omubazzi agamba nti yeegatta ku kibiina ky'abakyala bano mu 2017. " Okuva lwe nneegatta kukibiina kino saasigala kye kimu.

Muwala wange ye yansikiriza okweyunga okukyeyungako olw'engeri gye yali akulaakulanira ku misinde. Obumalirivu n'engeri abakyala bano gye baddukanyaamu emirimu gyabwe ya kika kya waggulu ekyabanneegombesa era okuva lwe basalawo okubeeyungako siddangamu kubonaabona na bintu ebimu mu bulamu ng'ebisale by'essomero.

Mu ntandikwa naweebwa 500,000/- ne nnyongera mu bizinensi yange ey'obubazzi olw'ensonga nti yali etandise okugwa olw'okugisokoolamu ssente ez'ebyetaago byange ebi-rala omuli ez'okulabirira amaka, okusasula ebisale by'essomero n'ebirala kyokka nga sigyongeramu. Kyanneewunyisa okuba nti abakyala bano banzikiriza okubeegattako newankubadde nali musajja era nze nasooka okukolera awamu nabo nga ndi musajja.

Twalowooza ku ky'okugaziya bizinensi yange eyafuuka eyaffe kati n'abakyala abo era kati tuweza abaana 5 ab'amalirizza siniya eyookuna be tusomesa eby'okubaggya nga basasula 30,000/- buli mwezi.

Kati nneewola okuva mu kibiina kyaffe kino nga bwe nsasula mpola, era embeera teddangamu kunkaluubirira olw'engeri bizinensi yange gy'egaziyeemu. Abaana bange basoma, ndabirira amaka gange, obulamu bwange bweyagaza okutwalira awamu.

EKIBIINA KINTEREEZEZZ A MU NNEEYI SA abdul hakim kijjambu ye musajja owookubiri ali mu kibiina era annyonnyola bw'ati: Nnali mulalu mu mbeera ez'ekivubuka ng'era ekibiina kino nakimanyira ku ssenga. Nafuna ekirowoozo eky'okugenda okubeewolako ensimbi, tebaasooka kunneesiga wabula oluvannyuma nabalemerako era nga nkiika mu nkiiko zaabwe okubalaga nti kye ndiko nkyagala.

Oluvannyuma lw'emyezi mukaaga, naweebwa 300,000/- ne nsuubula obugatto bwe natandika okutunda nga bwe nzizaayo mpola ssente. Oluvannyuma lw'okuzisasula, naweebwa 500,000/- ne ntandika okutunda enku ku kyalo kino ezinkoledde ensimbi empitirivu. Enku nzitunda wakati wa 2,000/- okutuuka ku 80,000/-. Kuno nyongeddeko okuyiga okukola keeki era kati ndi mukugu.

Ekibiina kino kinnyambye kuba ebbanga lye nandimaze mu bavubuka bannange nga twenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka, mbimalira mu kibiina era bwe mbeerako ensobi gye nkoze, bambuulirira ne nkyusa mu nneeyisa.

"EBIBAFUDDE AB'ENJAWULO

Tufuba okulaba ng'ebintu byonna bye tukola bituukana n'omutindo.

Okukolaganira awamu ate tetukkiriza bibiina bya bufuzi mu ffe kuba bitabula.

Mu mwaka oguwedde twewandiisa ku kitebe kya disitulikiti e Mukono tusobole okufuna omukisa okufuna ku ssente za gavumenti okwongera mu bizinensi zaffe.

Twetunze ffe ng'ab'ekibiina kino nga twenyigira mu kukola bulungibwansi, okutegeka enkuh− haana mu masomero okwogerako n'abaana, n'ebirala.

OKUSOOMOOZE BWA

Oluusi ssente zonna tuziwola ne tusigalirawo nga tetulina za kutandikirako ssinga wabaawo omulimu.

 Abamu ku be tuwola ensimbi badduka nazo kyokka nga n'emisingo si byabwe.

Oluusi mu nsimbi ze tuba tusazeewo okusonda okumaliriza kyonna kye tuba tugenda okukola abamu zibalemerera ekireetera mulimu ogwo okukolebwa empola oluusi n'obutakolebwa.

Tetulina byuma bifumba keeki era tufuna okusoomoozebwa okw'amaanyi olw'ensonga nti ensimbi ze twandibadde tutereka ate tuzisasuza ekifo gye tuzifumbira ne we tukuhhaanira.

BYE BAFUNYEEMU 1 Tuweza obukadde 8 ku akawunti y'ekibiina.

2 Tumanyiganye n'abatuuze wano e Kiwanga era tewali bizinensi ze batuyisaako.

3 Tuweerera abaana era kye twatwalanga ng'ekizibu kati kitwanguyira.

4 Tuyize emirimu mingi gye twali tetumanyi ate emizibu okugeza ng'okukola keeki n'emirimu emirala.

5 Twewala okubeera mu bukuukuulu n'ehhambo kubanga bisattulula ekibiina.

6 Tukozesa obwongo bwaffe okuyiiya ebyo bye tusobola okugyamu ensimbi.

7 Tulina ekirowoozo ky'okuzimba beekeri esinga obunene mu Mukono ssinga tuliba tuweereddwa obuyambi okuva eri gavumenti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....