TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira abakozi e Lira awoza gwa kukumpanya kawumbi

Akulira abakozi e Lira awoza gwa kukumpanya kawumbi

Added 24th April 2019

Tivu yakwatibwa akakiiko akaateekebwawo pulezidenti okunoonyereza ku nguzi ssaako enkola y’emirimu mu bakozi ba gavumenti akakulemberwa Lt. Col. Edith Nakalema, oluvannyuma lw’okutemezebwako nti Tivu ne banne okuli Geoffrey Ebonga ne Olwa Bonifance Odora bakozesa bubi ofiisi zaabwe.

 CAO wa Lira Mark Tivu (ku kkono) ku kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo gy'avunaaniddwa emisango gy'okukozesa obubi ofiisi.

CAO wa Lira Mark Tivu (ku kkono) ku kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo gy'avunaaniddwa emisango gy'okukozesa obubi ofiisi.

BYA MARGRET ZALWANGO     

AKULIRA abakozi mu munipaali y'e Lira asimbiddwa mu kkooti n'avunaanibwa emisango 15 egy'okukozesa obubi ofiisi, okubulankanya ssente ssaako okufiiriza gavumenti ssente ezikunukkiriza mu kawumbi kalamba.

Mark Tivu 56, omutuuze mu Ereda zooni ku munipaali y'e Lira yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Moses Nabende n'avunaanibwa emisango gino kyokka n'agyegaana.

Tivu yakwatibwa akakiiko akaateekebwawo pulezidenti okunoonyereza ku nguzi ssaako enkola y'emirimu mu bakozi ba gavumenti akakulemberwa Lt. Col. Edith Nakalema, oluvannyuma lw'okutemezebwako nti Tivu ne banne okuli Geoffrey Ebonga ne Olwa Bonifance Odora bakozesa bubi ofiisi zaabwe.

Kigambibwa nti mu mwaka 2016/2017  ne 2017 /2018  baggyayo obukadde 307 era ne bazisaasaanya mu byabwe oluvannyuma ne bategeeza nti zaakola ku mirimu gy'okukola enguudo, obukadde 74 ku by'obulamu, obukadde 54, 45, 11, 91 , 15 ssaako ssente endala nga zonna tezaakola bye zaali zirina okukola.

Looya wa Tivu, Caleb Alaka yasabye kkooti ekkirize omuntu  we yeeyimrirwe kubanga musajja wa buvunaanyizibwa, akuze mu myaka, alina amaka ag'enkalakkalira ng'ate aleese abamweyimirira mu kkooti abasaanidde.

Omuwaabi wa gavumenti, Mariam Acio yategeezezza omulamuzi nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso wabula omulamuzi Moses Nabende yakkirizza Tivu okweyimrirwa ku bukadde 12 ez'obuliwo ze yasasudde mu bbanka n'abamweyimiridde bana obukadde 200 ezitali za buliwo buli omu .

Omulamuzi era yalagidde Tivu obutaddamu kulinnya kigere mu ofiisi ye okutuusa ng'okunoonyereza mu misango egimuvunaanibwa kuwedde.

Omusango gwakuddibwamu nga May 21.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.