TOP

Ebya dokita gwe basse bikyalanda

Added 26th April 2019

Ebya dokita gwe basse bikyalanda

POLIISI y'e Kabalagala yagenze n'eggya sitatimenti ku muka landiroodi w'omugenzi Dr. Catherine Agaba, mu kaweefube w'okuzuula ebikwata ku nfa y'omugenzi.

Omu ku baserikale e Kabalagala yannyonnyodde nti muka landiroodi baamutuukiridde ne bamunnyonnyola nga bwe kyabadde kyetaagisa okumuggyako sitatimenti era n'akkiriza n'addamu buli kibuuzo obwedda kye bamubuuza.

Ensonda ku poliisi e Kabalagala zaategeezezza nti muka landiroodi yannyonnyodde nti abadde talina mpalana yonna na mugenzi Dr. Agaba nti naye yatandise kuwulira byogerwa ng'omuntu amaze okufa nti babadde n'obutategeeragana.

EYAKWATIDDWA AZZEEMU OKYUSA SITATIMENTI

Omuvubuka Ken Ronald Obangakene azze akyusakyusa sitatimenti okuva lwe yakwatibwa, ng'annyonnyola engeri gye yattamu omugenzi. Kino kituusizza abeebyokwerinda ku kulowooza nti omuvubuka ono teyali yekka, era bakyalina bingi bye balina okuzuula ku ttemu lino.

Sitatimenti z'omutemu zitambula bwe ziti: 1. Obangakene agamba nti dokita bwe yakonkona n'amuggulira, bwe yayingira n'amugwa mu bulago n'amutuga, omulambo n'akunyugunya mu kinnya kya kazambi n'akibikkako.

2.Mu sitatimenti eyookubiri, Obangakene agamba nti dokita bwe yakomawo, n'amuggulira, yali yaakayingira n'amuva emabega n'amukwata akabadiya n'amutta.

Mu kaseera ako mmotoka yajja ku geeti, n'asooka awalula omulambo n'agukweka emabega w'eryato ery'omulembe eriri mu kikomera omwo. Oluvannyuma yagenda n'aggulawo geeti mmotoka bwe yayingira, n'akomawo ku mulambo n'aguwalula n'agusuula mu kinnya kya kazambi. Bwe waayitawo akaseera, yaddayo ku kinnya n'akizuula nti omugenzi yali tannafa yali akyasamba.

Yamukwata n'amwambulamu empale empanvu gye yalimu n'agimutugisa n'amumaliriza omulambo n'aguzza mu kinnya.

3. Mu sitatimenti eyaakasembayo, Obangakene agamba nti dokita bwe yakomawo, yamuyita n'aggulawo geeti bwe yayingira, n'abaako by'amutuma ku dduuka.

Obangakene bwe yakomawo ku dduuka, n'atwalira dokita ebintu bye yali amutumye mu nnyumba. Bwe yatuuka mu ddiiro, Obangakene yategeeza dokita nga bwe yali aleese ebintu bye yamutumye.

Dokita yamulagira abimuteere ku mmeeza agende. Wabula Obangakene agamba nti bwe yatunula mu kisenge, oluggi lw'ekinaabiro terwali luggale n'alengera dokita ng'anaaba.

Wano we yafunira ekirowoozo n'amulumba n'amuvumbagira n'asooka n'amusobyako. Oluvannyuma yamutugumbula, omulambo gwe n'agukulula n'agufulumya ebweru n'agusuula mu kinnya kya kazambi.

Olw'obutakwatagana kwa sitatimenti zino, abeebyokwerinda kwe basinziira ne bagamba ntgi Obangakene alina omuntu gw'azibira, eyamutuma okukola ekikolwa kino gwe balina okunoonya bazuule

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...

Paasita Kayanja ng'ayogerera mu lumbe lwa Yiga. Ku kkono ye mukazi we

Kayanja akungubagidde Yiga ...

Kayanja akubirizza abagoberezi ba Yiga obutageezaako kutangatanga wabula banywere n'omusumba Andrew Jengo okusobola...