TOP

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Added 26th April 2019

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

ENTIISA ebuutikidde abatuuze mu kabuga k'e Kijjabwemi mu kibuga Masaka, mutuuze munnaabwe William Bill Ochen 22, ng'abadde musawo mu kalwaliro ka Zulaika Medical Clinic, abavuzi ba bodaboda bwe bamukkakkanyeeko ne bamukuba ne bamutta. Ochen ng'azaalibwa mu disitulikiti y'e Serere okuttibwa yabadde agenze mu lumbe ku kyalo Bisanje mu ggombolola y'e Kabonera okuziikirako muliraanwa we.

Kino kiddiridde okumuteebereza okubeera mu lukwe lw'okutta Fahad Nsereko ne bamubbako pikipiki mu kiro ekyakeesa Olwomukaaga ku ssaawa nga 3:00 ez'ekiro mu bitundu bye Kako.

Matia Kabutu eyatutte omusawo mu lumbe yategeezezza nti bwe yamutuusizza n'ayingira mu nnyumba okulaba ku mufu nga ye amulinze okumuzzaayo e Kijjabwemi akole ku balwadde.

Yayongeddeko nti oluvannyuma lw'eddakiika nga 8 yagenze okulaba omukyala ava mu nnyumba nga yeesansabaga nti omutemu tumukutte era yagenze okuwulira oluyogaano emmanju n'alingizaayo yagenze okulaba nga musawo ali mu kulaajana nga bwe yeewozaako kyokka engeri gyabadde tamanyi Luganda tebaamuwuliriza ne batandika okumukuba. "Nnavuze pikipiki okudda e Kijjabwemi okutegeeza bannange embeera musawo gye yabaddemu.

Twafunye emmotoka ne tuddayo e Bisanje kyokka olw'abadde okutuuka ku kkubo kumpi n'olumbe amaaso tw'agakubye ku mulambo ensisi kata etutte". Omulala eyeerabiddeko (amannya gasirikiddwa) agamba nti embeera eno yavudde ku Ochen kuyingira mu nju okukuba ku mufu eriiso evvannyuma ate ng'akaseera kaabadde k'akwetegekera kumutwala kumunaaza nga tewakyali akkirizibwa, ono olw'abikkudde ku mulambo oluyoogaano we lwatandikidde nti omutemu wuuno yeereese.

Baatandise okumusoya ebibuuzo nga tasobola kubyanakula olw'olulimi kubanga amanyi Luzungu na Luteso lwokka ate ga tamanyiddwa na mu kitundu. Ekyaddiridde aba bodaboda kwesogga nju ne bamusikambulayo ne bamukuba okutuusa lwe baamusse. Poliisi okuva e Masaka yayitiddwa bukubirire okutaasa obulamu bwe kyokka yasanze mulambo era baaguggyeewo ne bagutwala mu ddwaaliro e Masaka okw'ekebejjebwa.

Zulaika Namugenyi nnannyini kalwaliro kano yategeezezza Bukedde nti Ochen yamusabye okugenda okuziika oluvannyuma lwa mukwano gwe okumukubira essimu ng'amubikira era n'amukkiriza kyokka eriiso lye yasembye okumukubako ng'asimbula ku ssaawa nga 6:30 lye lyakomye ekyaddiridde kufuna ssimu ku ssaawa nga 8:00 ng'emubikira.

Yagambye nti ku lunaku Nsereko lwe bagamba nti lwe yattibwa, Ochen yali ku ddwaaliro okuva ku makya okutuuka ku ssaawa 5:00 ez'ekiro we baggalirawo eddwaaliro. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Lameck Kigozi yakakasizza obutemu buno era n'avumirira enkola y'okutwalira amateeka mu ngalo. Yagambye nti bakyanoonyereza okuzuula abaakoze obutemu buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...