TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Added 26th April 2019

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

 Asantehere Otimufuo Osei Tutu ng"abuuza ku Nnaalinya Lubuga Dr Nabaloga

Asantehere Otimufuo Osei Tutu ng"abuuza ku Nnaalinya Lubuga Dr Nabaloga

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II ayozayozezza Asantehene Osei Otumfuo Tutu II olw'okuweza emyaka 20 ng'akulembera abantu mu Bwakabaka bwa Asante mu Ghana.

Kabaka yawerezza ekibinja eky'amaanyi e Ghana nga kyakulembeddwamu Nnalinya Lubuga Dr. Agnes Nabaloga, Omumbejja Joan Nassolo n'omukungu David Ntege,akola ku nsonga z'abagenyi mu Bwakabaka bwa Buganda.

Mutebi II yasiimye, Tutu II olw'okutumbula enkulakulana mu bantu be ng'ayita mu kunyweza obukulembeze obw'ennono mu kitundu kino. Obwakabaka bwa Asante bwe bumu ku businga obugagga ku lukalu lwa Afirika. Buno butudde ku ky'obugagga kya Zaabu n'ebyobugagga eby'omuttaka ebirala ntoko.

Ku bijjaguzo by'amatikkira Jubireewo ebya Kabaka Mutebi II omwaka oguwedde, Tutu II yeyali omugenyi ow'enjawulo ku mikolo gino egyaliwo mu July 2018.

Omukolo gw'okujjaguza emyaka 20 egya Tutu II gyabaddewo ku Ssande April 21,2019 nga gyabadde mu Lubiri lwe olusangibwa e Manhyia mu kibuga Kumasi e Ghana esangibwa mu bugwanjuba bwa Afrika. Gwetabiddwako n'omukulembeze wa Ghana Nana Addo Dankwa Akufo- Addo n'abakulembeze okuva mu mawanga amalala.

Ebikujjuko bino byabadde byamaanyi ddala ng'omukolo guno gwatandise ku ssaawa mukaaga ez'emisana negukomekkerezebwa mu matumbi budde anti Asantehene yagabudde abagenyi be ekijjulo makeke.

Mu kwogera kwe Tutu II yebazizza abagenyi be abavudde mu mawanga ag'enjawulo nategeza nti kano kabonero akalaga obukulu bw'obukulembeze bw'ennono mu kukulakulanya amawanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...