TOP

Bannamagye abalala balekulidde e Sudan

Added 27th April 2019

BANNAMAGYE b’omu Sudan abaawambye obuyinza bakyalemeddwa okwenywereza mu ntebe gye baggyeemu Pulezidenti Hassan Omar al-Bashir kati atemeza emabega w’emitayimbwa olw’akazito abantu baabulijjo ke bongedde okubassaako.

 Abeekakakaasi nga bali ku nguudo e Sudan.

Abeekakakaasi nga bali ku nguudo e Sudan.

Akazito abantu baabulijjo ke batadde ku bannamagye katuusizza abamu ku bagenero abali ku kakiiko akafuzi okusuulawo ebifo byabwe ne beegatta ku Lt. Gen. Ahmed Awad Ibn Auf 65 eyasooka okulayizibwa nga Bashir yaakawambibwa kyokka entebe n'emwokya n'agiddukamu nga tannagiwezaamu wadde olunaku olulamba.

Obuyinza bannamagye baabuwamba ku Bashir nga April 11, 2019 ne bassaawo akakiiko k'amagye akafuzi akayitibwa Military Transitional Council (MTC) nga kaliko bagenero 10 abakulirwa Lt. Gen. Abdel Fattah Abdelrahman Burhan.

Kyokka abantu baabulijjo bagaanyi enfuga ey'amagye era bakyagenda mu maaso n'okwegunga nga bawakanya ebyalangirirwa bannamagye nti bagenda kuwaayo obuyinza mu bantu baabulijjo mu myaka ebiri.

Ku Lwokuna, abakulembeze b'abeekalakaasi abeegattira mu bibiina; ekya Sudanese Professionals' Association (SPA) ne Alliance for Freedom and Change, baasisinkanye bannamagye abeewahhamya mu buyinza ne babanjulira bye beetaaga oba ssi ekyo bagenda kukunga abantu abasoba mu kakadde babalumbe nabo babatwalaganye nga bashir.

Mu kukkakkanya abantu, Lt. Gen. Abdel Fattah Abdelrahman Burhan akola nga Pulezidenti wa Sudan yakkirizza obumu ku bukwakkulizo bw'abeekalakaasi omwabadde n'okussaawo akakiiko ak'awamu akagenda okukola ku nteekateeka ez'okuzza obuyinza mu nfuga ey'abantu baabulijjo.

Mu kafubo ako, abantu baliko bagenero be beemulugunyizzaako nti be bamu abaali abasaale mu ku bakubamu amasasi agatta bannaabwe abasoba mu 200 ne basaba baggyibwe ku kakiiko k'amagye akafuzi n'enteekateeka zikolebwe okubaggulako emisango.

Bagenero basatu be balumiriza baabano:

Bagenero abaasongeddwaamu ennwe ye: Lieutenant General Omar Zain al- Abdin, Lieutenant General Jalaluddin Al-Sheikh ne Lieutenant General Al- Tayieb Babikir era bano baalekulidde ebifo byabwe ku kakiiko akafuzi.

Ssentebe w'akakiiko k'amagye , Lt Gen Abdel Fattah Abdelrahman Burhan yakkirizza okulekulira kwabe era kino kyakkakkanyizza abeekalakaasi wabula baasabye nti bagenero abo naddala Lieutenant General Jalaluddin Al- Sheikh basimbibwe mu kkooti bavunaanibwe emisango egy'okutta abantu.

Omwogezi wa gavumenti ya bannamagye, Lieutenant General Shamseddine Kabbashi, yategeezezza nti ensonga ezisinga abantu ze baayanjulidde akakiiko k'amagye zikoleddwaako n'agamba nti okulekulira kw'abamu ku baakakiiko k'amagye akafuzi kye kimu ku byasabibwa abeekalakaasi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...