TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yabadde nga firimu ng'ababbi balumbye Supermarket e Mpereerwe

Yabadde nga firimu ng'ababbi balumbye Supermarket e Mpereerwe

Added 29th April 2019

okumuttaYabadde nga firimu ng’ababbi balumbye Supermarket e Mpereerwe

 Abantu nga bali awaabadde obubbi n’ettemu.

Abantu nga bali awaabadde obubbi n’ettemu.

YABADDE nga firimu ng'ababbi ab'emmundu balumbye Supermarket e Mpereerwe okunyaga ensimbi, emmundu n'etokota okukkakkana nga balemeseddwa kyokka mu kuwaanyisiganya amasasi ne batta omukuumi n'okulumya omukazi eyabadde ku bibye.

Ababbi baalumbidde ku pikipiki za Bajaj ssatu nga baabadde baluse olukwe olw'okubba ssente mu Supermarket ya City Shoppers ey'omugagga Guard Tulyazayo era nnannyini Peoples Supermarket ku siteegi e Mpereerwe.

Omukuumi eyattiddwa ye Okot Buton 26, abadde akuuma ekifo kino ng'ava mu kkampuni ya Tight Security Ltd. ku ttabi ly'e Lubaga. Baamusse bwe yabadde agezzako okubahhanga era wano we baamukubidde amasasi mu kifuba n'amagulu agaamuttiddewo.

Bino byabaddewo ku ssaawa 3:15 ez'ekiro ku Lwomukaaga e Mpereerwe mu Kikuubo Zooni ku luguudo oludda e Gayaza.

EYALABYE AYOGEDDE Adam Tumusiime omusissi wa chapati okumpi ne Supermarket eno, yannyonnyodde nti, abazigu baabadde basatu nga bajjidde ku pikipiki nzirugavu nga buli omu ali ku yiye nga bambadde ebikooti ng'ebyabavuzi ba bodaboda.

Baazisimbye ku kkubo ne beegabanya ebifo. Asikaari baamusanze ku mulyango ne bamugamba nti, ‘ka chini, ka chini' (ekitegeeza nti, tuula wansi, tuula wansi), ye yasigadde agenda gye bali kyokka nga talina kyakulwanyisa kyonna kwe kumukuba amasasi abiri mu kifuba ng'agwa nga yeevunise.

Omulala eyabadde n'emmundu ennene yayingidde munda ababiri ne basigala ebweru nga batulisa amasasi mu bantu. Bwe baamaze okufuna ekiveera omwabadde ssente ne bafuluma ebweru ku dduuka lya ‘mobile money' ne bagamba omuvubuka n'omuwala ababadde munda nti, ‘nyamanza' (ekitegeeza nti musirike), babatadde ku midumu gy'emmundu ne babaggyako ssente ze baabadde nazo ne basamba pikipiki zaabwe ne beeyongerayo. Kigambibwa nti abatemu bayise mu kakubo ka baabigere akayita mu nnyumba z'abatuuze okutuuka ku luguudo oludda Kawempe - Ttula.

BEEKALIISA NGA BIRINGA EBYA FFIRIMU Mu kiseera we baalumbidde waabaddewo akalippagano k'ebidduka ak'amaanyi era obwedda ebigenda mu maaso abaabadde mu mmotoka nga babyota buliro.

Abamu baabadde mu maduuka ate abalala nga bali mu madirisa ne wansi wa mmotoka. Abaalabye baagambye nti abasajja abaabadde bawandagaza ebyaasi baabadde balaga nti batendeke kuba obwedda emmundu bazikutte n'omukono gumu nga bwe babuuka mu bbanga nga bakomando abantu obutabeetegeereza.

Obubbi n'ettemu lino we byabadde ziri mmita 200 ne poliisi y'e Kanyanya kyokka abantu bagambye nti, abazigu baamazeewo eddakiika ezaaweze 15 wabula poliisi yatidde okubambalira. Abatemu nga bamaze okugenda, abantu bayoddeyodde Okot, Jalia n'omukazi eyakubiddwa esasi mu kugulu ne babatwala mu kalwaliro ka Braakeline ku luguudo lw'e Gayaza wabula Okot yabadde yaakatuusibwayo n'afa.

ABAASIMATTUSE BOOGEDDE Edward Kamuhanda mutuuze w'e Nammere mu Kiteezi, yagambye nti; "nabadde nva ku mulimu nga nzira waka ne ndowooza okukyama ku Supermarket okugula ekyokunwya.

Nabadde naakasimba mmotoka ne mpulira amasasi mu nagivuddemu ne nziruka nga nzira e Kampala. Amasasi gano gaakwatiddemu n'endabirwamu z'emmotoka yange ez'emabega." Daisy Nabuuma mutuuze mu kitundu kino; Nabadde munda nga hhenze kugulira mwana wange ‘ice cream'. Omusajja yayingidde ng'ataddeko kakookolo naye ng'ayambadde ekikooti ekinene. Yahhambye nti, ggwe situla omwana ove ku firiigi.

Natidde nnyo ne ndowooza nti oba ye maneja w'ekifo. Yatadde abakozi ku mudumu wy'emmundu nze n'andagira okufuluma. Nafulumye n'omwana wange nga bwe tudduuka wabula abasajja be twasanze ebweru ne batuwereekereza amasasi, erimu lyakutte Jalia omukozi wange eyabadde annindidde ebweru wa Supermarket." Ronald Abindabbyemu Maneja wa Supermarket yagambye nti, "abazigu bazze mbalaba nga ndi ku mmotoka wabweru. Nze n'abakozi abalala twekwese mu kaabuyonjo okusobola okutaasa obulamu."

OKUNOONYEREZA KUTANDIKA Ku Ssande poliisi okuva e Kawempe, Wandegeya, Kasangati ne Kanyanya ng'eyambibwako ebitongole by'ebyokwerinda ebirala, baaleese ebyuma ebikessi okukuhhaanya obujulizi. Baazudde ebisosonkole by'amasasi musanvu okwetooloola ekifo we battidde Okot.

Baayingidde munda okuzza emabega akatambi ka kkamera eziri mu kifo kino. Kyategeerekese nti baazudde engeri abazigu gye baatuuse mu kifo kino ne bye baakoze munda. John Omino akola ne kkampuni ya Tight Secutiry omugenzi gy'abadde akola, yagambye nti omulambo gw'omugenzi gukyali mu ggwanika e Mulago gye gugenda okuggyibwa gukwasibwe ebeehhaana okukola ku nteekateeka z'okuziika. Lawrence Bakirabye ssentebe wa Kikuubo Zooni, yagambye nti wabaddewo obumenyi bw'amateeka naye nga ssi bwa mmundu nga buno.

Luke Owesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yagambye nti ssente ezabbiddwa mu Supermarket tezinnategeerekeka 4,5000,000/- ezaggyiddwa ku ‘mobile money'. Yakubirizza abantu abalina bizinensi ennene okweyambisa abakuumi abalina emmundu. Fayiro eri ku poliisi y'e Kanyanya ku fayiro nnamba SD:38/27/04/2019 n'omuyiggo gugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...