TOP

Owa NRM asisinkanye bankubakyeyo

Added 29th April 2019

Owa NRM asisinkanye bankubakyeyo

 Omona (mu ssaati enjeru) ne bankuba Kyeyo. Mu kyenvu ye Walusimbi

Omona (mu ssaati enjeru) ne bankuba Kyeyo. Mu kyenvu ye Walusimbi

OMUMYUKA w'omuwanika w'ekibiina kya NRM Dr. Omona Kenneth Olusegun asisinkanye Bannayuganda abakolera mu mawanga ageebweru ne bakkaanya ku ngeri gye basobola okuyambibwamu mu nteekateeka zaabwe ez'okwekulaakulanya n'ekibiina kya NRM.

Akulira ba NRM ababeera ebweru w'eggwanga Hajji Abbey Kigozi Walusimbi yakulembedde bammemba be okuva mu Amerika, Canada, Bungereza, Turkey, Thailand, Denmark, China n'amawanga amalala ne basisinkana Dr. Omona ku kitebe kya NRM mu Kyaddondo Road e Nakasero Mu kafubo kaabwe, Dr. Omona yakkaanyizza ne bankubakyeyo nti NRM erina okussaawo enkola ey'okumanya abantu bonna abali mu mawanga ageebweru nga bawandiisibwa n'oluvannyuma bayambibwe mu nteekateeka ez'okusitula ekibiina n'okukulaakulanya eggwanga lyabwe.

Dr. Omona yagambye nti mu nteekateeka eyo, Bannayuganda bonna abali mu mawanga ageebweru naddala ag'omu Asia bagenda kulondoolwa okumanya bye bakola n'okufaayo okubayamba mu bizibu bye basanga nga bali ku mawanga.

Kyakkaanyiziddwaako nti Ssaabawandisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba nti bagenda kumukolera enteekateeka ez'okutalaaga amawanga ageebweru okusisinkana abawagizi ba NRM ne Bannayugada bonna okumanya ebizibu byabwe.

Hajji Walusimbi yasiimye obukulembeze bw'oku kitebe kya NRM naddala okufulumya pulogulaamu egenda okugobererwa mu kwetegekera akalulu ka 2021 n'agamba nti pulogulaamu eyo nabo ababeera ebweru w'eggwanga bagenda kugyenyigiramu.

Omuyambi wa Pulezidenti ku kulwanyisa obwavu, Hellen Namutamba, yawadde bankubakyeyo amagezi ku ngeri gye bayinza okusiga ssente zaabwe mu Uganda ne bafunamu ne gavumenti neganyulwamu Edriss Kironde avunaanyizibwa ku by'amawulire yasabye gavumenti okuggulawo ebitebe mu mawanga gonna Bannayuganda gye bakolera basobole okuyambibwa nga bakola emirimu gyabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...