TOP

Abasomesa balaze ebiyamba abayizi obuteerabira

Added 29th April 2019

Abasomesa balaze ebiyamba abayizi obuteerabira

Abaana abato balina langi ezibasikiriza nga emmyufu, bbulu ne kyenvu. Kiba kirungi ebifaananyi by'obasomesezzaako okukozesa langi ezo batere basseeyo omwoyo. Simon Peter Muwonge, owa The Eaglets Schools e Busega; Obwongo bw'omwana buli lwe yeeyongera okukula nabwo bugenda buyiga ebintu ebipya.

Mu kubayigiriza ku kintu ekipya kirungi okutandikira ku kikadde kye bamanyi olwo n'ozzaako ekipya. Kiyamba okubateekateeka n'obutatya kipya oluusi kye bayinza okulaba ng'ekizibu. Buli lw'okozesa ekintu omwana ky'amanyi era ky'ategeera obulungi okumuyigiriza ekipya, akwata bulungi n'akitegeera era kiba kizibu okukyerabira mu bulamu bwe, kuba wakozesa ekintu ky'ategeera obulungi.

Okugeza; bw'oba osomesa abaana ku bungi bw'ebintu, leeta ebintu bye bamanyi nga; obuti, amakalaamu ebingi n'ebitono okubategeeza nti, bino bye bisinga obungi. Bw'oba osomesa ku ssaako (circle), okozesa omupiira, omucungwa okulaga ekintu ekyekulungirivu. Bw'oba osomesa ku kintu ekinene n'ekitono, osobola okukozesa ensawo zaabwe ze baleeta ku ssomero, emikebe, oba bo bennyini, ng'obalaga ekinene n'ekitono ne basobola okwawula.

Kirungi okukozesa ebintu ebibanyumira so si bibanakuwaza ne basobola okutegeera obulungi. Samuel Macho, musomesa wa Kubala ne ssaayansi ku Seeta Junior School e Mbalala -Mukono; Essomo ly'Okubala lye limu ku gasinga okusumbuwa abayizi, naye mu kukozesa obukodyo obwenjawulo omwana ekiwuggwe kimuggwaamu n'ategeera bulungi. Kirungi okukozesa embeera ekwetoolodde ng'owa ebyokulabirako. Abayizi oyinza n'okubafulumya wabweru w'ekibiina nga muliko bye mupima. Oleetera ddala minzaani ne bapima buli kintu nga balaba.

Bwe babeera wabweru w'ekibiina batera okunyumirwa olw'embeera enzikakkamu era ne kibayamba okutegeera. Abayizi bagenda okukiwandiika mu bitabo nga bategedde bulungi bwe kibeera. Abayizi okubeera n'essuubi ly'okufunayo ekirabo ng'alina ky'akoze obulungi kimwongera amaanyi okussaayo omwoyo n'okunyiikira.

Ekirabo kiyinza obutabeera kya ssente wabula oluusi bannaabwe okubakubirako mu ngalo nga bakoze bulungi. Gw'olaba ng'alina kye yeeyongeddeko oyinza okumulonda ku ba "Academicians of the week" n'obatimba kaadi (Tags) eziraga nti be bazira ba wiiki eyo mu byensoma, kino bakyagala era buli omu atandika okukikolerera.

Kasole Lwanga Bwereere, munnabyanjigiriza; Ensomesa y'okukwatako (practical) y'eggyayo obuyiiya bw'omwana, n'omusomesa n'akwata si kusinga kwogera.

Okugeza; ssinga omusomesa aba asomesa essomo ku Perimeter ng'ayogera bwogezi nga bw'asomesa ku buwanvu n'obugazi, nga talaze makulu gaakyo aba atendeka mwana kukwata bukusu naye nga tategedde.

Omusomesa okusomesa ku kumeruka kw'ensigo y'ekijanjaalo n'akuba bukubi kifaananyi kya nsigo ya kijanjaalo ku lubaawo tekiyigiriza mwana. Omwana asaana okusimba ekijanjaalo ne bakigoberera enkula yaakyo, ne bakisomako nga bwe kikula, nga buli mutendera gwe kituukako bagusoma bagulabako, ayinza n'okuwa abaana emikebe buli omu n'asimba ekijanjaalo ekikye.

Buli lw'akigoberera nga bwe kikula amanya ensonga lwaki emirandira giri bwegiti, lwaki kikula kidda ludda bwe luti n'ebirala. Wano omusomea aba ataddemu obuyiiya okusomesa abayizi ne bategeera bulungi ebibasomesebwa.

Okusomesa ku Formation of Rain, omusomesa asobola okukuma essigiri ne bafumbako amazzi mu sseffuliya, waggulu ne bateekayo ebbaati omukka oguva mu mazzi kwe gutuukira ne gukola amatondo g'amazzi.

Omuyizi asomye mu nsoma bweti, ne bw'abuuzibwa ebibuuzo by'obuyiiya mu ngeri yonna, aba asobola okubiddamu bulungi, kuba aba yakikolako n'engalo ze yennyini.

Abasomesa bakyuse mu nsomesa, kye kijja okuyamba abaana b'eggwanga okukwata ne bategeera bulungi ebibasomesebwa ne bakaddiwa nabyo nga tebabyerabidde. Sam Kuloba, kaminsona w'ebyenjigiriza bya siniya; Waliwo ensomesa gye tuyita intrinsic enkulu ennyo eyeetaagisa mu kusomesa abayizi.

Wano omusomesa alina okuteeka abayizi nabo ne beenyigira mu ebyo by'asomesa nga bwabaagazisa okubitegeera. Ssinga abaana nabo beenyigira mu bisomesebwa, kibayamba okubitegeera n'okubijjukira obulungi, si basomesa kuba nga be boogera bokka nti basomesa, abaana bayiga nga bwe bazuula, kale beetaaga okulekerayo omukisa nabo okwenoonyeza ne bazuula ng'omusomesa bw'abayambako okubatereeza.

Omwana bw'omuwa omukisa okwenoonyeza ekintu n'azuula, kizibu okukyerabira, wano oba omusibiridde entanda y'okutegeera obulungi ekyo ky'omusomesezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...