TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NRM bakukkulumidde poliisi okulinnya eggere mu mukolo gwabwe

Aba NRM bakukkulumidde poliisi okulinnya eggere mu mukolo gwabwe

Added 29th April 2019

Nga bakulemberwamu ssentebe waabwe, Steven Wabomba baakedde kutegeka bintu omuli obutebe ne tenti wabula kyababuuseeko poliisi y’e Nabweru bwe yazze n’eyimiriza omukolo nti tebaasoose kufuna lukusa.

 Ekifo awaategekeddwa omukolo gwa NRM ogwasaziddwamu poliis.

Ekifo awaategekeddwa omukolo gwa NRM ogwasaziddwamu poliis.

Bya Steven Kiragga

BANNAKIBIINA kya NRM abeegattira mu kabiina ka "Gwe walabyeko ye mwana" bakukkulumidde bannaabwe ne poliisi olw'okulinnya eggere mu mikolo gyabwe egyabadde gitegekeddwa ku kisaawe e Nabweru.

Nga bakulemberwamu ssentebe waabwe, Steven Wabomba  baakedde kutegeka bintu omuli obutebe ne tenti wabula kyababuuseeko poliisi y'e Nabweru bwe yazze n'eyimiriza omukolo nti tebaasoose kufuna lukusa.

Wabomba agamba nti baawandiikidde ofiisi eziwerako omuli ne IGP ssaako RDC wa Wakiso. Yayongeddeko nti ekibiina kyabwe kino kigendereddwa okwagazisa abantu NRM n'okukulaakulanya abatuuze nga babawa ebyetaagisa awatali kusosola muntu olw'ekibiina kye.

Yalumirizza nti waliwo akabinja ka bannakibiina mu Nansana ababalemesa. Poliisi eyabadde mu"leeya" yalagidde abavubuka abaabadde bazze okusambira omupiira mu kisaawe kino okutikka obutebe n'ebintu byabwe babizze ku mmotoka. 

Ssentebe wa NRM mu divizoni ye Nansana, Musa Kalungi yategeezezza ng'akabinja kano bwe katamanyiddwa era nga tebaategeezezza ku bakulira ekibiina mu kitundu. Yabawabudde okuwandiikira ofiisi ez'enjawulo balyoke bafune olukusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basajja ba Bobi be baakubyemu ttiyaggaasi nga babuna emiwabo.

Nobert Aliho musajja wa Bob...

Abawagizi ba Bobi Wine ababadde batambulira ku kabangali bakiguddeko poliisi bwebakubyemu obukebe bwa ttiyaggaasi...

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...