
Chameleone ng’asala keeki n’aba famire ye. Oku- leone ng’anyumirwa. va ku kkono, Weasel, Pallaso ne Maama waabwe.
OMUYIMBI Jose Chameleone asinzidde ku mukolo gwe bamutegekedde okujjaguza emyaka 40 n'ategeeza nga bw'amalirizza enteekateeka z'okuvuganya ku ntebe ya Loodimeeya wa Kampala mu 2021.
Okumanya amazaalibwa ga Chameleone gaabadde mu sitayiro, ng'oggyeko okugabula keeki, yakubye abawagizi be emiziki okusingira ddala ennyimba ze enkadde okubasiima olw'obuwagizi bwe baamuwadde emyaka 20 gy'amaze mu nsike y'okuyimba.
"Neebaza Katonda ampadde obulamu okulaba nti nsobodde okubeera ku nsi emyaka 40 ekitundu ky'obulamu omuntu bwasuubira okubeera ku nsi. Nafuuka ssereebu ku myaka 20 era olw'obuwagizi bwe mupadde ebbanga lyonna, nsobodde okusigala nga ndi nnamba emu n'okutuusa kati..." Chameleone bwe yagambye ku kabaga akaabadde ku bbaala ye eya DNA e Kololo.
OKUSOOMOOZEBWA KW'AYISEEMU
Chameleone bakira ayimba nga bw'asiriikirizaamu okubaako by'agamba abawagizi be nti wadde atuuse ku buwanguzi obw'enjawulo, ayise mu bizibu bingi.
"Nze Chameleone eyava ku kkalina eyookusatu e Tanzania ne ngwa ne menyeka, ebyagwa e Sseguku mwabimanya abantu abamu ne batuuka n'okunsalira omusango naye nze Chameleone atagejja, atakogga ate atagenda…."
ASIIMYE BOBI WINE
Chameleone omu ku bantu abaagaaniddwa okukyalira Bobi Wine mu kkomera e Luzira, yakozesezza omukisa gw'omukolo guno okumusiima olw'okukyusa ekifaananyi ky'abayimbi mu bantu n'okubalaga abalina ebirooto by'okuvuganya mu by'obufuzi nti basobola.
"Nsaasira muganda wange Bobi Wine olw'ebizibu ebyamutuusizza n'okusibwa mu kkomera e Luzira. Okumala ebbanga babadde batuyita ba bidongo naye muganda wange Kyagulanyi Ssentamu alaze ensi be bayita abadongo nti tuli baabuvunaanyizibwa era tusobola okubeera abakulembeze abalungi era nange Chameleone nzija ekiseera kyonna..."