TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssebuguzi ayogedde engeri Nantaba gye yamwawukanyamu ne Bugingo

Ssebuguzi ayogedde engeri Nantaba gye yamwawukanyamu ne Bugingo

Added 4th May 2019

Ssebuguzi ayogedde engeri Nantaba gye yamwawukanyamu ne Bugingo

 Bugingo ne Ssebuguzi. Ssebuguzi naye yali Musumba mu church ya Bugingo ne bawuukana

Bugingo ne Ssebuguzi. Ssebuguzi naye yali Musumba mu church ya Bugingo ne bawuukana

PAASITA Martin Sebuguzi ayatudde ekyama nti naye ekyamwawukanya ne Paasita Aloysius Bugingo yali muwala Susan Nantaba Makula. Sebuguzi okwogera kiddiridde muka Bugingo, Teddy Naluswa okuvaayo n'alumiriza omuwala Nantaba okubeera nga ye yamalawo essanyu ly'obufumbo bwabwe, oluvannyuma lw'okuganza bba gw'amaze naye emyaka 29.

Naluswa era yategeezezza nti Nantaba y'emu ku nsonga eyayawula Sebuguzi ne bba wadde nga Bugingo yavaayo ne yeekangabiriza n'ajingirira ensonga omuli n'okulumiriza Sebuguzi okumuwa obutwa emirundi ebiri nti kyokka n'asimattuka. Sebuguzi yagambye nti ye yali maneja wa Salt Radio eya Bugingo era bwali buvunaanyizibwa bwe okunoonya abakozi n'okubabangula mu buweereza era mu mbeera eyo mwe yafunira Nantaba n'amuwa omulimu. Agamba nti bwe yaweebwa obwamaneja bwa leediyo yalina okunoonya abantu ab'okukola nabo.

Yalowooza ku Nantaba gwe yali alese ku Alfa leediyo eya Dr. Joseph Serwadda n'amukimayo kuba yali amulabye nga bw'amukolamu omulimu asobola okubeera omulungi. "Namuyigiriza buli kimu ne Bugingo n'asiima obuweereza bwe.

Kino kyatuusa Susan okulowooza nti buli kye nkola naye yali akisobola" bwe yagambye. Agamba nti ekiseera kyatuuka omuwala n'abeera nga ne lw'atajje ku mulimu takyayogera era nga bw'abeera ku mulimu alaga nti alina obuyinza bungi n'okusinga maneja. "Bwe nneemulugunyanga ng'ebyange omukulu tabitwala nga nsonga, okutuusa lwe yangoba nti buli kimu basobola okukyekolera" Sebuguzi bw'agamba.

Agamba nti Bugingo yawuliranga bubi buli lwe yalabanga Sebuguzi okumpi ne Nantaba. Ayongerako nti kino kyali kimweraliikiriza bwereere kuba enkolagana yaabwe yali ekoma ku bya mirimu. "

AKOZESA BUTWA OKWONOONA ABANTU" Sebuguzi yagambye nti okutabuka kw'obufumbo bwa Bugingo takuwagira era akuvumirira.

Yakkaatirizza ebyayogeddwa Naluswa nti Bugingo eky'okuwaayirizanga abantu b'atabuse nabo nti babadde bagenda kumuwa butwa akikozesa kwonoona mannya g'abantu abo. Muka Bugingo yamwogeddeko nga omukazi ow'a-mazima era omuweereza wa Katonda atabwerimbiseemu bwerimbis

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.