TOP

Besigye ne Lukwago basisikanye Bobi Wine

Added 5th May 2019

Besigye ne Lukwago basisikanye Bobi Wine

DR. KIZZA Besigye ne bakulembeze banne mu Peoples Government okuli Loodi meeya Erias Lukwago ne Betty Nambooze Bakireke bakyalidde omubaka Robert Kyagulanyi ne bamukulisa ekkomera n'okuteesa ku bintu ebyenjawulo omuli okwegatta bakolere wamu. Bateesezza nti buli ludda lukomye okuwanyisiganya ebigambo n'okulumba abakulembeze bwe balina ebigendererwa ebifaanagana.

Bakkiriziganyizza nti bongere okwogerezeganya buli kiseera nga wabaddewo kaweefube agenderera okugatta abali ku ludda oluvuganya. Baamusisinkanye ku Lwokutaano mu makaage e Magere ku luguudo lw'e Gayaza.

Obugenyi bwamaze essaawa mukaaga nga bateesa n'okwogera ku bintu ebyenjawulo. Nga tebannaba kutuuka , Bobi Wine bwe yategedde nti bakulembeze banne bagenda kumukyalira n'ayita muganda we Fred Nyanzi akwanaganya omukago gwa People Power mu ggwanga ayanguwe abeerewo .

Batuuse ku ssaawa 06:00 ez'emisana nga bamutwalidde ebintu ebyenjawulo omwabadde amatooke , enkoko ne kalonda omulala. Yabayingizza mu ddiiro mwalabira abagenyi abakulu n'asooka abagabula nga bwe banyumya ku mboozi y'ekkomera .

Loodi meeya Erias Lukwago yagambye nti baamukyalidde nga mukulembeze munnaabwe era alina ebintu ebibagatta ebyenjawulo . "Ffenna tulina ebigendererwa bye bimu , ffenna tukwatiddwa ne tusibibwa mu makomera agenjawulo era ffenna tuli bakulembeze b'abantu" Lukwago bwe yagambye.

Yategeezezza nti era n'e Luzira baali bagenda kyokka abaserikale ne babalemesa okutuukayo. Bobi Wine abadde ankyalira mu makaagange ng'abakulembeze era kino ekyabaddewo si kipya okugenda okusaasira omuntu ekkomera kubanga tewali atamanyi bizibu bya kkomera .

Ate Fred Nyanzi yagambye nti baakikoze okusaasira munnaabwe ekkomera n'okumulaga omukwano nti bakolera wamu. Yagambye nti okusituka kw'abakulu kabonero kanene akategeeza enkolagana ennungi n'okwegatta era twagala enkolagana eno yeyongere okutogyera.

Nyanzi yagambye nti omuntu nga Dr. Kizza Besigye alina bingi byakoledde oludda oluvuganya era asaana okusibwaamu ekitiibwa okulaba nti bakolaganira wamu naye.

Yagambye nti ng'abakulu baayogedde ku bintu bingi era bakyagenda mu maaso n'okwogera kyokka ng'ekisinga obukulu kwabadde kukulisa Bobi Wine kkomera n'okumusaasira byonna ebyamutuseeko wadde n'ebirala byayogeddwaako. Akafubo kaawezezza essaawa mukaaga nga boogera era abatuuseeyo ku ssaawa mukaaga ez'emisana baavuddeyo ku ssaawa 12 ez'olweggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...