TOP

'Poliisi ennyonnyole ekyattisa mutabani wange

Added 5th May 2019

‘Poliisi ennyonnyole ekyattisa mutabani wange

 Kezekia Kayabula ng’alaga amawulire agaafulumira mu Bukedde ku kufa kwa mutabani we Mbirire (mu katono waggulu).

Kezekia Kayabula ng’alaga amawulire agaafulumira mu Bukedde ku kufa kwa mutabani we Mbirire (mu katono waggulu).

TAATA w'omuserikale wa poliisi eyafiira mu mikono gy'amagye nga gamukunya ku bigambibwa nti yali ayazika omuzigu emmundu n'agikozesa mu bubbi asabye omuduumizi wa poliisi, Okoth Ochola okunnyonnyola enfa ye n'ekikoleddwa ku baamutta.

Gideon Mbirire nnamba 63516 eyali owa poliisi y'e Kabulengwa e Nansana okumpi n'e Kampala ye yafiira mu mikono gy'amagye oluvannyuma lw'omuzigu eyategeerwaako erya Ssemwogerere okukwatibwa n'amulumiriza nti y'abadde amwazika emmundu n'abba ne bagabana.

Kyokka taata w'omugenzi, Kezekia Kayabula, yagambye nti teyamatira na nfa ya mutabani we kuba bukyanga afa tafunanga kunnyonnyolwa lwaki yattibwa n'ekyakolebwa ku baamutta nga buli ofiisi gy'agendamu bamuzunza bamuzza eno n'eri.

Okusinziira ku Bukedde wa March 23, omwafulumira amawulire gano, Ssemwogerere yasangibwa n'emmundu n'agamba nti abadde agiggya ku ‘afande' n'abba ne bagabana ssente. Omugenzi bwe yakwatibwa emmundu yasangibwamu amasasi ana (4) gokka era yali asula nayo awaka. Yatwalibwa ewa DISO w'e Kawempe nti oluvannyuma n'atwalibwa ku miritale poliisi e Kawempe ku ttaawo.

Oluvannyuma nti yafa n'atwalibwa kabangali nnamba UG2361C mu ggwanika e Mulago era sitetimenti eri ku poliisi eya Casuality e Mulaga eri ku nnamba SD/10/21/03/2019. Okuva olwo enfa y'omugenzi aba famire tebaagitegeera mu butongole.

Kayabula omutuuze w'e Kasubi zooni II yagambye nti yagenda mu kitongole ekikwasisa poliisi empisa n'ayogera ne afande Nicholas Niwagaba eyamugamba ensonga azitwale ku poliisi e Kawempe. Yagambye nti yagenda ku poliisi e Kawempe n'aggulawo omusango gw'obutemu ku fayiro nnamba Def.001/2019 era emwezi mulamba talaba kigenda mu maaso. Yagambye nti omusawo wa poliisi yagamba okumubuulira ekituufu ku nfa y'omugenzi kyokka nti yamukubira essimu yaggyako nzigye.

Yagambye nti omugenzi yaleka abaana babiri n'omukazi. Yasabye abakulira poliisi okunnyonnyola ekyattisa mutabani we nga tatwaliddwa mu kkooti ng'ate mukozi wa gavumenti nga bo. Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga n'omumyuka we, Patrick Onyango Bukedde yagezezzaako okubafuna ku ssimu okubaako kye boogera kyokka ne kitasoboka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...