TOP

Lwakataka akukkulumye ku misango egimuggulwako

Added 5th May 2019

Lwakataka akukkulumye ku misango egimuggulwako

MUNNABYAMIZANNYO Posiano Lwakataka avuddeyo n'akukkulumira ssaabawaabi wa Gavumenti olw'okwekobaananga n'abagagga ne bamuggulako emisango egitali gimu e Mukono gy'agamba nti gyabulimba.

Bwabadde awaayamu ne Bukedde ku kkooti e Mukono, Lwakataka agambye nti kimwennyamiza buli lw'ajja mu kkooti e Mukono okweyanjula wabeerayo fayiro empya nga kati alina fayiro musanvu nga kumpi buli luvannyuma lwa nnaku bbiri abeera alina okubeera ku kkooti, ky'agambye nti kisannyalaza emirimu gye.

"Mu kiseera kino sirina kye nsobola kukola kuba nnina emisango mingi egitaliiyo nga n'egimu baaginteekako mu kiseera bwe nali mu kkomera, kino nkizudde nti omunaku tasobola kusinga musango naye nze neesize Katonda," bwe yategeezezza.

Ono asabye Ssaabawambi wa gavumenti bw'aba ng'alina kye yamukola amusonyiwe kuba asusse okumunyigiriza n'okumuggulako emisango nga kati takyasobola n'akugenda wabweru wa ggwanga kusuubula. Yabadde alabiseeko mu maaso ng'omulamuzi w'eddaala erisooka, Patience Koburunga n'abalala okuli Abas Kabuka, Fred Higro, Rose Nakafeero, Brian Lukwago, Brain Semakula Siraje Tamale, n'abalala nga bavunaanibwa omusango gw'okusaalimbira mu ttaka eritali lyabwe ssaako n'okwonoona ebintu bya Mzeei George William Kawooya ku kyalo Kiwanga mu Goma, Mukono.

Bwabadde alabiseeko mu kkooti eno, Muzeeyi William Kawooya agambye nti ettaka yaligula ku Patrick Makumbi era abantu abaliko n'abasasula wabula tamanyi lwaki Lwakataka amulemerako kwe kusalawo okwekubira enduulu mu kkooti esalewo eggoye. Omusango omulamuzi agwongeddeyo okutuusa nga June 4, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.