TOP

Ssaalongo asobezza ku w'emyaka 7 ku jjambiya

Added 5th May 2019

Ssaalongo asobezza ku w’emyaka 7 ku jjambiya

 Ssaalongo Kiwanuka ku mpingu. Ku ddyo ye Ssebbowa akulira essomero.

Ssaalongo Kiwanuka ku mpingu. Ku ddyo ye Ssebbowa akulira essomero.

POLIISI n'abatwala ebyenjigiriza mu Kalungu baliko omusajja ssedduvutto gwe bakutte n'aggalirwa ku bigambibwa nti abadde akifudde kinyumu okusobya ku kawala ak'emyaka omusanvu.

Okusinziira ku David Mukasa Bbaale akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti eno, eyakwatiddwa ye Ssaalongo Benon Kiwanuka ‘Mukonjo' omutuuze ku kyalo Bulwadda mu ggombolola y'e Kyamuliibwa.

Ono okukwatibwa kyaddiridde omuyizi Cathy Nabakooza 7 ow'ekibiina ekyokusatu ku ssomero lya Bulwadda P/S, okuddukira ew'omusomesa n'amuttottolera nga Kiwanuka bw'abadde asusse okumukozesa.

Wano omukulu w'essomero Paul Ssebbowa naye we yabiyingiriddemu n'atemya ku bakama be n'avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu disitulikiti David Mukasa Bbaale. Bbaale yakwataganye ne poliisi y'e Kyamuliibwa olwo Kiwanuka n'akwatibwa.

Ssebbowa yategeezezza nti, omuyizi ono yabannyonnyodde nti, Ssaalongo Kiwanuka yasooka kumusobyako ku lunaku lwa Paasika, jjajjaawe bwe yali amutumye ewuwe kwe kumukwatira ejjambiya n'amulagira aggyemu empale, bwe yamaliriza emikolo ate n'amutiisatiisa okumusalako obulago singa ayogera.

Bazadde be Herman Kigongo ne Maria Nantongo baategeezezza nti, kawala kaabwe kabadde kabeera ne Jjajja waako Pascazia Nsekerabbanja 70, ng'ono mukwano nnyo gwa Ssaalongo Kiwanuka ng'era abaddenga tava wuwe.

Kigambibwa nti Ssaalongo Kiwanuka abaddenga yeeyambisa walagi okutamiiza nnamukadde okunyweza enkolagana yaabwe.

Poliisi omwana yamututte mu ddwaaliro lya Kyamuliibwa Health Centre IV, gye baamukeberedde ne bazuula nti, yabadde asobezeddwaako, era Ssaalongo Kiwanuka n'aggulwako omusango gw'okujjula ebitayidde oguli ku fayiro nnamba SD Ref:10/026/04/2019 gw'alindiridde okuwerennemba nagwo mu kkooti ng'okunoonyereza kuwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...