TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC evuddeyo ku bya Bobi Wine okusinga Besigye ettutumu

FDC evuddeyo ku bya Bobi Wine okusinga Besigye ettutumu

Added 6th May 2019

FDC evuddeyo ku byavudde mu kunoonyereza nga biraga nti Bobi Wine asinza Col. Kiiza Besigye ettuttumu era nti asobola okumusinza obululu singa beesimbawo kati n’egamba nti mukama wabwe (Besigye) talwanirira bwa Pulezidenti wabula kununula ggwanga.

 Omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda (ddyo) ng’ali n’omumyuka w’omwogezi w’ekibiina John Kikonyogo

Omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda (ddyo) ng’ali n’omumyuka w’omwogezi w’ekibiina John Kikonyogo

FDC evuddeyo ku byavudde mu kunoonyereza nga biraga  nti Bobi Wine  asinza Col. Kiiza Besigye ettuttumu era nti asobola okumusinza obululu singa beesimbawo kati n'egamba nti mukama wabwe (Besigye) talwanirira bwa Pulezidenti wabula kununula ggwanga.

‘'Besigye yaleka omulimu gwe omusava e Nairobi n'ajja okwetaba mu lutalo olwanunula Uganda (mu myaka gy'ekinaana). Olutalo lwa Besigye okununula Uganda ssi lwa kwagala kufuuka Pulezidenti'' omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda bwe yategeezezza.

Yabadde ayogera eri bannamawulire ku kitebe ky'ekibiina e Najjanankumbi. Kino kidiridde ebyafulumidde mu lupapula lw'olungereza olumu olufulumira mu Kampala nga biraga nga bwe wabaddewo okunoonyereza ne kuzuula nti omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine  ennaku zino asinza Besigye amaanyi era okulonda ne kubaawo leero amusinza obululu.

Kyokka Ssemujju yagambye nti ebyavudde mu kunoonyereza ssi bituufu.

Yanenyezza poliisi n'ebitongole by'okwerinda ebirala olw'okulemesanga aba FDC okwogera eri abantu mu kutalaaga eggwanga kwe baliko naddala eky'okuggyangako leediyo nga Besigye agenze mu bitundu ebimu.

Kyokka yagambye nti tebajja kugenda mu kkooti nga bawakanya eky'okuggyangako leediyo wabula bajja kuguguba bagende maaso n'embeera.Yagambye nti ebya gavumenti okukwatanga Bobi Wine n'okumuggulangako emisango bigenderera kutiisatiisa bantu bave  mu by'okuwakanya gavumenti.

Yasabye Pulezidenti Museveni okweyambisa amawulire annyonnyole ebitagenda bulungi mu gavumenti abamuvuganya bye basongako olunwe mu kifo ky'okuggyangayo ttiya ggaasi okubunya enkung'ana zaabwe emiwabo.

Yategeezezza nti yewunya Pulezidenti Museveni okweyambisanga emikutu gy'amawulire okuwerezanga obubaka bwe ng'ate alemeddwa okukuuma eddembe lya bannamawulire.

Ssemujju era yasabye Abasiraamu okusiiba nga basabira eggwanga lireme kugenda mu butabanguko olwa kye yayise abakulembeze abatayagala kuva mu buyinza.Era n'asaba bannaddiini okuvaayo bagambe ku Pulezidenti Museveni akyuse mu nkola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...