
Omubaka Mubarak Munyagwa
Munyagwa asindise looya we Caleb Alaka n'ebbaluwa eraga nti yagenze mu musomo e Nairobi ogwekuusa ku COSASE olugenda okumala wiiki nnamba.
Munyangwa avunaanibwa okulya enguzi ya bukadde 100 okuva ku mugagga Francis Kakumba.
Kigambibwa nti bino byaliwo mu 2014 bwe yamukakasa nti agenda kusendasenda bakansala balonde mutabani wa Kakumba amanyiddwa nga Isaac Muyanja akiikirire Kawempe division ku kakiiko k'ettaka aka KCCA.
Wabula Munyagwa awakanya omuwaabi wa gavumenti omukulu okumuvunaana. Agamba nti ye ne Kakumba baali bategeeragana dda emisango ne bagimala.
Ye omulamuzi Pamela Lamunu omusango agwongzzaayo okutuusa nga June 10, 2019 era n'ayongezaayo n'ekiragiro ekiyita Munyagwa mu kkooti.