TOP

Meghan Markle azaalidde Abangereza Omulangira

Added 7th May 2019

ABANGEREZA baasuze mu masanyu olw’Omulangira Harry omu ku batabani b’omumbejja Diana okuzaala Omulangira.

Meghan Markle eyali omuzannyi wa firimu mu Amerika n'afumbirwa Harry ekyamuleetera okufuna ekitiibwa kya Duchess of Sussex, yazadde ggulo ku Mmande oluvannyuma olw'okusimbibwa ebisa n'atwalibwa mu ddwaaliro ku makya.

Harry ye yamwetwalidde era ye yafulumye n'ayogera eri bannamawulire wabweru w'eddwaaliro nti Obwakabaka bwa Bungereza bufunye omulangira.

Omulangira y'omu kati ku bayinza okutuula ku namulondo y'Obwakabaka bwa Bungereza mu maaso eyo.

Okusinziira ku mawulire ga Telegraph e Bungereza, mu leeba Omumbejja gye yazaalidde, Harry yabadeyo nnyo okumuzzaamu amaanyi agaasindise Omulangira.

Wabula Omumbejja yalina kuzaala wiiki ewedde naye ekyo abasawo baagambye nti tekyabadde na buzibu.

Obubaka bw'omulangira, Harry yasoose kubuteeka ku mukutu gwe ogwa Instagram era ng'omukutu ogwo gwabadde gwakaggulwawo kyokka gwafunye abantu abaabadde baagala okumanya amawulire bayitiririvu na kati bakyagugoberera okumanya ebiddirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Obugagga bwa Bisaka buwunii...

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu...

Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Busega.

Abawagizi ba pulezidenti Mu...

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa...

Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.

Ssegirinya wansuubiza okunf...

NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo....

Kansala Bitamiisi (ku kkono) abantu gwe baagambye nti muto.

Omwana asuuzizza maama eggaati

ABANTU bawuniikiridde bwe balabye omuwala abamu gwe baayisa omwana ng'awangudde obwakansala okukiikirira eggombolola...

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...