TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugingo yejjusa obudde bwe yamala ne Teddy: Ayogedde lw'anaalaga omugole Makula

Bugingo yejjusa obudde bwe yamala ne Teddy: Ayogedde lw'anaalaga omugole Makula

Added 8th May 2019

Bugingo yagambye nti obudde bwe yamala ne Teddy Naluswa tekitegeeza nti yali musanyufu era wadde babadde baludde nga bafumbo tekitegeeza nti, Teddy ye mukazi we omutuufu.

Bugingo yagambye nti obudde bwe yamala ne Teddy Naluswa tekitegeeza nti yali musanyufu era wadde babadde baludde nga bafumbo tekitegeeza nti, Teddy ye mukazi we omutuufu.

Bugingo yejjusa nti yandibadde wa maanyi nnyo ssinga yalabukirawo n'amwesonyiwa ng'obudde tebunnayita .

Era yalumbye n'abamunenya okusuulawo amakaage amatiribona n'addukira mu muzigo n'ategeeza nti okudduka awaka kya bunnabbi era kya Bwakatonda kubanga omuntu akwewerera okukutta bw'otomudduka ne bw'akutta togenda mu Ggulu kubanga n'omuntu eyasooka okufa mu nsi eno Abeeri yattibwa mugandawe Kayini.

"Abo abandeekaanira okudduka mu nnyumba bagende basome ebyawandikibwa.

Famire bw'otogiviira esobola okukutta naddala omukazi nga yeegasse n'omwana era kyava dda mu byawandiikibwa.

Ebizibu abasumba abamu tebabirowoozaako badda mu ntalo nga balowooza banantwalako abantu bange. Naye ebyo byonna bamala biseera nze Katonda yanjiwako amafuta gonna", bwe yeewaanye.

Wano kwe kulangirira nti mukazi we omugole ajja kumwanjulira abantu mu lukuhhaana e Namboole era n'asaba abalina abakazi nabo okujja n'abaabwe bannaabwe basobole okubalaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...

'Amafuta' g'omusumba gaanzi...

GIFT Katusiime, 20, eyali atembeeya caayi mu Kampala ali mu kusoberwa okutagambika. Alumiriza omusumba gye yali...