TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Bugingo ne Ssenyonga beeyuzizza beeyuzizza: Beerangidde ebisongovu

Paasita Bugingo ne Ssenyonga beeyuzizza beeyuzizza: Beerangidde ebisongovu

Added 8th May 2019

“Okuleka omukazi gwe wagattibwa naye n’oganza omulala obwo buba bwenzi. Bugingo ave mu bwenzi addeyo ewa mukazi we”, Ssenyonga bwe yategeezezza ku Mmande akawungeezi. Kyokka bino olwagudde mu matu ga Bugingo n’amwambalira. “Ssenyonga ayogera ki? Oyo musajja mubbi. Ekkanisa ye eya Christian Life e Bwaise yagizimba ku ttaka lye yabba ku bamulekwa”, bwe yategeezezza mu kusaba kw’omu ttuntu eggulo.

 Paasita Jackson Ssennyonga ne Bugingo

Paasita Jackson Ssennyonga ne Bugingo

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga awabudde munne Bugingo ave mu kye yayise obwenzi adding'ane ne mukazi we ow'empeta Teddy Naluswa Bugingo.

"Okuleka omukazi gwe wagattibwa naye n'oganza omulala obwo buba bwenzi. Bugingo ave mu bwenzi addeyo ewa mukazi we", Ssenyonga bwe yategeezezza ku Mmande akawungeezi. Kyokka bino olwagudde mu matu ga Bugingo n'amwambalira.

"Ssenyonga ayogera ki? Oyo musajja mubbi. Ekkanisa ye eya Christian Life e Bwaise yagizimba ku ttaka lye yabba ku bamulekwa", bwe yategeezezza mu kusaba kw'omu ttuntu eggulo.

Ebyo yabyogedde akkaatiriza bye yasoose okwogerera ku ttivvi ye eya Salt ku Mmande ekiro ku pulogulaamu ya "Emisingi" kwe yalumbidde Ssenyonga okweyingiza mu nsonga z'amaka ge ate nga naye Ssenyonga mubbi.

Ssenyonga yagambye, "Bugingo simumanyi nga Musumba wabula omutuuze Munnayuganda eyasalawo okubuzaabuza abantu ng'ababuulira enjiri mu ngeri y'ekifuulannenge.

Awuliddwa emirundi mingi ng'asinziira mu kkanisa ye n'avumirira empeta n'okuwagira abafumbo okwawukana. Ekyo kikyamu.

Bugingo alina okukomya okubuzaabuza abagoberezi mu bugenderevu. Ekirala ave mu bwenzi agobe malaaya adde ewa mukyala we bakkaanye olwo ffe ng'abasumba tujja kuyingirawo tumusabire."

Kyokka ne Bugingo amulumbye nti mu basaana okwogera ku by'okubuzaabuza abagoberezi Ssenyonga taliimu kubanga y'asinga okukikola.

" Ssenyonga bw'aba ayogera mazima ambuulire lunyiriri ki mu Bayibuli olulagira omusumba okunyaga oba okubba ettaka lya bamulekwa n'alyekomya?", Bugingo bwe yeebuuzizza wakati mu nduulu okuva mu bawagizi be eggulo.

Kwe kugamba nti abamulumbye okusuulawo mukazi we n'agenda n'omuwaala Susan Makula Nantaba tebamanyi kye boogera kubanga bali wala n'ensonga.

Yabuuzizza oba baali baagala amale kufa balyoke bategeere nti babadde n'obutakkaanya mu maka gaabwe.

"Oba nnafunye malaaya kale kammufune kasita nabo balina abaabwe nange bandeke n'owange".

Yayongedde okulumba Ssenyonga nti Nnabbi wa bulimba n'ategeeza nti ekimutawaanya tamanyi byawandiikibwa kubanga tabiwa budde kati buli ky'ayogerako alowooza kipya ate n'abagoberezi be tebamanyi era tebasobola kumuwakanya kubanga omulamwa gw'enjiri ye gwa P5.

N'abagoberezi ba Ssenyonga ba P5. Ekigambo P5 kivvuunulwa nti ennyukuta ‘p' ziri ttaano okuli Praise, Prayer, Power, Prosperity and Permanent miracles".

Eno Pulogulaamu ya Ssenyonga ebeerawo buli lunaku ng'agamba nti mw'ayita okusumulula abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...