TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abagambibwa okutta omukadde e Masaka bakwatiddwa wakati mu bukuumi

Abagambibwa okutta omukadde e Masaka bakwatiddwa wakati mu bukuumi

Added 8th May 2019

Abagambibwa okutta omukadde e Masaka bakwatiddwa wakati mu bukuumi

 Mugula (ku kkono) ne Abas (mu kinu) nga baggyibwa e Mpugwe okutwalibwa ku poliisi e Masaka.

Mugula (ku kkono) ne Abas (mu kinu) nga baggyibwa e Mpugwe okutwalibwa ku poliisi e Masaka.

ABATUUZE baatadde poliisi e Masaka ku bunkenke ng'ebaggyako abavubuka babiri be balumiriza okutta omukadde. Obunkenke buno bwabadde mu kabuga k'e Mpugwe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka ng'eyatemuddwa ye mukadde Bruno Musaafiri.

Ssentebe wa LCI, Hajji Ahmad Kaboggoza n'oweebyokwerinda Leonard Lule bategeezezza nti omulambo gwa Musaafiri gwalabiddwa ku makya g'Olwokubiri nga guliko ebiwundu eby'amaanyi ku mutwe.

Baagasseeko nti bwe baabuulirizza, ne wabaawo abaasonze ku Godfrey Mugula Masada ne munne eyategeerekeseeko erya Abasi nti baabalabye ekiro nga bakuba Musaafiri. "Kiteeberezebwa nti Musaafiri yagezezzaako okwerwanako abeesimattuleko kyokka n'abulwa abamuyamba kubanga bangi batya abavubuka bano olw'okunywa enjaga," bwe bakkaatirizza.

Abaakakiiko baatemezza ku poliisi y'e Mpugwe n'ekwata abavubuka bano wabula abatuuze olwakuhhaanye ne bagirumba bagiremese okubatwala e Masaka nti bababalekere nabo babeekolereko.

Poliisi yalabye abatuuze bafunze ekyonga, abaserikale ne bakookinga emmundu n'okuzigalula mu bbanga ekyabakakkanyizza ne bagyesega. Abaserikale baddusizzaawo abasibe n'omulambo ne guggyibwawo okutwalibwa mu ggwanika.

Abakwate baatwaliddwa ku poliisi e Masaka ng'abatuuze bwe bawera nti singa bakomawo ku kyalo nabo bajja kubatta!

Abatuuze beekokkodde enkola ya ‘Mwanawagundi' nti y'ebasibyeko obuzzi bw'emisango ng'enjaga baginywa kyere n'okwenyigira mu bikolobero ebitali bimu ng'aboogerako gwe bambalira. Abatuuze basabye Gavumenti n'ababaka ba Palamenti obutayisa tteeka ery'okulima enjaga ekyere mu Uganda nti kijja kwongera okutabulatabula eggwanga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...