TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Male Mabiriizi awandiikidde Ochola omukuuku gw'ebbaluwa

Male Mabiriizi awandiikidde Ochola omukuuku gw'ebbaluwa

Added 8th May 2019

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga omukuuku gw’ebbaluwa ng’amusaba amukakase nti poliisi egenda kumuwa obukuumi ku ye nebintubye mu kiseera ky’agenda okumala ng’atalaaga eggwanga okusonda sente ezinaamuyamba mu musango gwe yawaabye mu kkooti ya East Africa.

 Male Mabirizi ng'ali mu kkooti

Male Mabirizi ng'ali mu kkooti

Wiiki ewedde May 3, 2019 Mabiriizi yatudde omusango mu kkooti ya East African Kkooti Of Justice oguli ku nnamba 06/2019 ng'awakanya ensala ya kkooti ensukkulumu eyakakasa palamenti kye yakola okuggyawo ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Ebbaluwa yagiwandiise ku Mande n'ajjukiza poliisi nti okusinziira ku nnyingo 212(a) mu ssemateeka wa Uganda erambika obuvunaanyizibwa bwa Poliisi okukuuma omuntu n'ebintubye.

Ennyingo 29(1) (e) ewa abantu eddembe okukuba enkung'aana omuli n'ezookusonda sente ate 29(2) (a) emuwa eddembe okutambula mu buli kitundu kya Uganda nga takugiddwa muntu yenna.

Mu bbaluwa y'emu ategeeza nti ennyingo 43(2) (a) ne (c) erambika nti omuntu akola ekintu kyonna ku lw'obulungi bw'eggwanga talina kutulugunyizibwa lwa byabufuzi wadde okukugirwa okwenyimiriza mu ddembelye nga bwe lirambikibwa mu ggwanga eririna demokulasia.

"Okwesigama ku nsonga ezo waggulu nsaba ompe obukakafu nti nja kufuna obukuumi nze n'ebintu byange okuva mu kitongole ky'okulira" Mabiriizi bwe yaggumizza n'agamba nti asuubira okutalaaga munisipaali awamu ne Town Council  50 okwetoloola eggwanga.

Yategeezezza nti ebifo waagenda okukuba enkung'aana waakubitegeeza poliisi n'obudde bw'anabeerawo nga tannaba kusitula kugendayo era wekisoboka enkiiko waakuzikolera mu bisenge ebinene omukolerwa emikolo nga n'abantu okuyingira balina kumala kwewandiisa.

Ezimu ku nsonga Mabiriizi ze yawadde ng'awaaba yategeezezza nti:

  • Abantu baabulijjo bammibwa omukisa okwetabamu okukyusa ssemateeka.
  • Waaliwo okukozesa ekifuba n'okutyoboola eddembe ly'abantu ekyaleetera amagye ne poliisi okuyingira mu palamenti ne gakwata n'okusiba ababaka.
  • Okulemwa okugoberera amateeka n'emitendera palamenti gy'eyitamu okukyusa ssemateeka.
  • Sipiika Kadaga okuwolereza pulezidenti etteeka aliteekeko omukono nga lyawukanna kw'eryo ababaka lye baakubaganyaako ebirowoozo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu