TOP

Bugingo ayongedde okunyiga

Added 9th May 2019

Bugingo ayongedde okunyiga

 Bugingo ne mukazi we Naluswa nga tebannayawukana. Wano baali mu kusaba.

Bugingo ne mukazi we Naluswa nga tebannayawukana. Wano baali mu kusaba.

OMUSUMBA Aloysius Bugingo olwakutte akazindaalo n'alabula: Luno olutalo terujja kuggwa okutuusa nga nduwangudde. Buli annumba tugenda kwambalagana ensi etegeere! Buli omu nja kumwanika.

Olwamalirizza ebyo n'atandikira ku musumba munne Sennyonga; Oyo Ssennyonga anneesonyiwe kubanga alina ebizibu bingi ebisinga ebyange n'abantu bye bamanyi obulungi nti anyonyoogera abawala ku nnyonyi.

Bingi bye nnina n'ebisinga awo bye nja okwasanguza bw'atanneesonyiwe. Bugingo yagambye nti, Ssenyonga bw'aba ayagala okugolola ensobi z'abalala, asookere ku zize kubanga naye aliko ebbala eddene.

Yatandise okusaba kw'emisana eggulo nga mukambwe era yatandikidde we yabadde akomezza olutalo lwe ne Jackson Ssennyonga owa Christian Life Church gwe yabadde yatandiseeko ku Lwokubiri.

Ssenyonga ye yasooka okuvaayo ku Mmande n'ayambalira Bugingo olw'okubaswaza ng'abasumba bwe yaggya ensonga z'ekisenge kye ne mukyala we mu maka gaabwe n'aziteeka mu lujjudde wakati mu nnamungi w'abantu mu kkanisa ye eya House of Prayer Ministries International e Makerere. Ssenyonga yayise Bugingo Nabbi ow'obulimba eyaleseewo amaka ge n'agenda ne gwe yayise malaaya era ayagala okutwala abantu mu kuzikirira.

Bugingo yabadde nga eyazzeeyo okunoonya ebivumo ebipya by'anaavuma Ssenyonga gwe yayise omusajja omukulu atalina nsonyi nti yeekomya ettaka lya bamulekwa n'atakoma okwo, n'akola n'emize egitajjansa ku nnyonyi ng'atigaatiga omuwala.

SSENYONGA YE HEEDIMASITA WA BANNABBI ABOOBULIMBA - BUGINGO

Bugingo yagambye nti, ani yawa Ssenyonga obuyinza okukola olukalala lwa bannabbi abatuufu n'aboobulimba?

N'agamba nti ye ayita banne abalimba ye heedimasita waabwe kubanga y'akulembera bannabbbi ab'obulimba bonna mu ggwanga. Yamulabudde amanye waakoma.

Bugingo yagambye nti, Ssenyonga amukwatirwa buggya olw'ekkanisa ya Pentagon egenda okusinga obunene mu buvanjuba ne mu masekkati ga Afrika.

Yagambye nti, Ssenyonga yeegasse ne mukazi we Teddy Naluswa Bugingo bagimulemese okugizimba n'agamba nti naye ekyo kikafuuwe kubanga Katonda ye yateekateeka pulaani yaayo teri mwana wa muntu asobola kugiremesa kuzimbibwa era bamala biseera.

Yamugambye nti, bw'aba talina maanyi gamulwanyisa amwesonyiwe asigale kumulaba bulabi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwami wange answaza ku kyalo

OMWAMI wange avuga takisi naye alina omwana w’omugagga gw’abadde atwala ku ssomero buli ku makya. Naye kirabika...

Mulyanyama ( mu kkooti) ng’ali n’abamu ku bakansala abaalondeddwa.

Bakansala abaalondeddwa baj...

Bakansala abaalondeddwa okukiika ku munisipaali za Kampala balabise okuwa bameeya obwangu mu kukulembera olw'okuba...

Rogers Bulegeya eyawangudde eky’abavubuka mu Masaka City nga bamusitudde.

Emivuyo mu kalulu k'abavubuka

OKULONDA kw'abavubuka n'abakozi kwetabiseemu obuvuyo ng'entabwe eva ku ssente n'okwerumiriza okwagala okubba obululu....

Sharon Kemigisha ayawangudde

Ababadde beesimbyewo bagaan...

Ababadde beesimbyewo ku kifo kya kansala omukyala ku muluka gw' e Wandegeya ku lukiiko lwa Kawempe munisipaali...

Omubaka Ssewungu ng'alaga omusaalaba gwe.

Omubaka Ssewungu ayogedde a...

Bulijjo ababadde beebuuza lwaki omubaka Joseph Gonzaga Ssewungu Sapule temuva mu bulago abanuukudde. Ssewungu...