TOP

Asse muganzi we n'amusalako omutwe

Added 9th May 2019

Asse muganzi we n’amusalako omutwe

 Omugenzi Kanyi bw’abadde afaanana.

Omugenzi Kanyi bw’abadde afaanana.

ABATUUZE okutegeera nti muliraanwa waabwe atemuddwa, zaabadde ssaawa 10:00 ez'olweggulo ku Lwokubiri nga balaba taggulawo kyokka nga leediyo mu kizigo ke yasiibye eyogera obutasalako.

Baagenze okumenya oluggi kwe kusanga ng'ekiwuduwudu ky'omulambo gwa Hellen Kanyi 23, kiri wansi mu kibembe ky'omusaayi nga n'omutwe gwe guzingiddwa bulungi mu bulangiti ne gussibwa mu kasonda k'omuzigo gwe mw'abadde asula.

Ettemu lino, lyabadde ku kyalo Mabanda mu mu kabuga k'e Matugga ku luguudo oludda e Ssemuto mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri.

Agambibwa okubeera omutemu, Nicholas Tumuramye 25, abadde muganzi wa Kanyi gw'abadde yaakafuna. Kigambibwa nti olwamaze okumutta, n'akubira famire ya Kanyi essimu ng'abategeeza nga omuntu waabwe bwe yabadde afunye obuzibu nti bagende bamuyambe. Tumuramye, mutunzi wa ngatto mu maaso g'essundiro ly'amafuta erya Gaz mu kabuga k'e Matugga.

Mu muzigo mwe battidde Kanyi mwasangiddwaamu obubonero bw'ensiitaano era kiteeberezebwa nti okutumbula leediyo, kaabadde kakodyo okulemesa baliraanwa okuwulira olutalo luno.

OMUTWE YAGULESE MU KASONDA

Abatuuze baalabye Kanyi taggulawo ate nga ne leediyo eyogerera waggulu kwe kutegeeza landiroodi waabwe eyafunye abantu ne bamenya oluggiBwe baayingidde mu nnyumba, tebaasoose kukitegeera nti kye baabadde balaba kiwuduwudu kya Kanyi kubanga tekyabaddeko mutwe. Kyabadde kigahhalamye wansi ku sseminti mu musaayi ogwabadde gutandise okukwata nga gufuuse ekibembe.

Baakubidde poliisi y'e Matugga era ye yazudde omutwe mu kasonda gye gwabadde gukwekeddwa nga guzingiddwa mu bulangiti olwo ne balyoka bakakasa nti ddala Kanyi yabadde atemuddwa.

Poliisi era yazudde engoye za Tumuramye ze yalese mu nju nga zivulubanye omusaayi kwe kuteebereza nti alina ky'amanyi ku ttemu lino. Rose Seki muganda wa Kanyi yagambye nti, Tumuramye yamukubidde essimu ng'amugamba nti, mugandawe yabadde anywedde omwenge mungi nnyo era yabadde tasobola kusituka n'amusaba agendeyo amuyambeko.

"Kale obwedda nneeganya okugendayo nga nninda hhendeyo olweggulo. Omusajja yankubidde essimu emirundi nga 10 ng'ambuuza oba hhenzeeyo ne mmulaba. Namugambye nti, nabadde nkyafumbira baana nga sisobola kubaleka nga tebalidde nga simanyi nti muganda wange baamusse dda." Seki obwedda bw'anyumya ng'eno amaziga bwe gamuyitamu.

Yagasseeko nti, Tumuramye teyakomye ku ye wabula yakubidde ne bazadde baabwe n'abategeeza nti, muwala waabwe yabadde afunye obuzibu era yabadde yeetaaga obuyambi amangu ddala.

Seki yagambye nti ono si ye musajja gw'abadde amanyi muganda we gw'abadde ayagala era ateebereza nti okufuna ennamba ye amukubire, yagiggye mu ssimu ya mugandawe, Kanyi, ng'amaze okumutta.

POLIISI EGGUDDEWO FAYIRO

Akulira ebyokwerinda ku kyalo kino Hamis Kizito yasabye wabeewo okunoonyereza okuzuula omutemu gye yaddukidde kubanga engeri gye yasseemu omukazi ono ya ntiisa ddala. Atwala poliisi y'e Matugga Bosco Patrick Obotol yagambye nti, batandise okunoonyereza era fayiro y'obutemu nnamba SD 28/07/05/2019 yagguddwaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...