TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nambooze awandiikidde Bugingo ebbaluwa n'amulabula

Nambooze awandiikidde Bugingo ebbaluwa n'amulabula

Added 9th May 2019

Nambooze awandiikidde Bugingo ebbaluwa n'amulabula

 Nambooze

Nambooze

OMUBAKA Betty Nambooze (Mukono Munisipaali) awandiikidde Omusumba Aloysius Bugingo ebbaluwa ng'amulabula nti amalala bulijjo ge gakulembera ekigwo n'amujjukiza n'ebyawandiikibwa mu Bayibuli ebiraga abasajja abaali ab'amaanyi abaayuuguumya ensi kyokka ne basaanawo olw'abakazi.

Nambooze yategeezezza Bugingo nti talina kubuusabuusa kwonna nti musajja wa Katonda nti kyokka ateekwa okukkakkana. "Njagala nkujjukize mwannyinaze Bugingo nti, Katonda tayagala bantu b'amalala naye awa ekisa abo abeetoowaza okusinziira ku 1 Petero 5:5," Nambooze bwe yagambye n'ayongerako nti, "Ssebo Bugingo, Delilah yagamba Samson nti Abafalisaayo bakulumbye n'awawamuka mu tulo n'alowooza nti agenda kufuluma nga bulijjo abeekunkumuleko kubanga ye Samson omulonde wa Katonda nga tamanyi nti Katonda yali yamwabulidde.

(Ekyabalamuzi 16:20). Yamugambye nti, singa abadde n'engeri ey'okumumatizaamu, yandimugambye nti, ‘musajja wa Katonda weetoowaze olwaleero odde eri Katonda by'akusomesa ku bufumbo kubanga nga Samson, okwagala kw etwalina eri obutuukirivu bw'ekigambo kya Katonda, busobola okufuuuka obutwa obumalawo ensi.

Wabula Bugingo yayanukudde Nambooze, ng'asinziira mu kusaba ku kkanisa ye nti ebbaluwa gye yamuwandiikidde yagisomye n'amusaasira kubanga talina budde bwa kumwanukula.

Nambooze ebbaluwa yagiyisizza ku mikutu gya yintanenti n'agamba nti wadde mukazi Mukatoliki era tasuubira kukyuka, Bugingo ye musumba we ow'omwoyo n'annyonnyola wakati wa September 2017 ne December 2018 ng'ali ku kitanda e Buyindi, yatandika okuwuliriza enjiri ya Bugingo n'awulira ng'etandise okumusensera.

Yamugattiddeko nti, baali basisinkanyeko bwe yamutuukirira ng'amusaba okubaako pulogulamu gy'akola ku Impact FM (Bugingo yaweerezaako ku leediyo eno ng'akyali ewa Dr. Sserwadda).

Nambooze agamba nti okugoberera Bugingo kyatandikira ku mukuumi we mu ddwaaliro eyateekangako enjiri ya Bugingo obutasumagira kuno ne kwegattibwako n'omusawo eyamugenderako e Buyindi eyawulirizanga enjiri ya Bugingo ku yintanenti buli kiro. Omukuumi n'omusawo bombi basabira wa Bugingo.

Ebbaluwa ya Nambooze eddiridde olutalo lw'ebigambo wakati wa Bugingo, mukazi we Teddy Naluswa ne muwala we Doreen Kirabo. Naluswa alumiriza Bugingo obwenzi ate ne Bugingo alumiriza mukazi we okugezaako okumutuusaako obulabe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...