TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde bakubiriziddwa okukuliza abaana mu ddiini

Abazadde bakubiriziddwa okukuliza abaana mu ddiini

Added 9th May 2019

Abazadde bakubiriziddwa okukuliza abaana mu ddiini

Bya Rosemary Nakaliri

Ye omulabirizi we Namirembe  Wilberforce Kityo Luwalira akuutidde abazadde Okukuliza abaana mu diini kibayambe okukula batya katonda. 

Luwalira okwogera bino abadde mukusaba kwokusaako abaana emikono mu kanisa ya All Saints e Kawempe Kilokole

Okusaba ku kkanisa ya All saints e Kawempe mu Busabadinkoni bwe kazo mu bulabirizi bwe Namirembe bwokusako abaana emikono abasoba my 130 kukulembedwamu omulabirizi we Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira nga ono mukubulira kwe akubiriza abazadde okukuliza abaana muddini kibayambe okukula nga batya katonda

Kino abazadde abasabye okukikola nga bawa obujulizi ku birungi katonda byabakoledde amwana naye yegombe okumanya katonda Oyo Agaba ebirungi era wano n'alabula abazadde okukomya okwemulugunya nga kwoka mumaaso ga baana ekibaletera okulowooza nti buli kimu tekisoboka mu maaso ga Katonda

Luwalira akuutidde abaana abatereddwako emikono obutatya kusomoozebwa kwona kuba ne yesu okuwangula yayita mukusomoozebwa n'abasaba okunywerera nga ku Katonda bwebanatuuka kubuwanguzi

Oluvannyuma ataddeko abaana e emikono abasobye mu 130 nga olumaze abasabidde katonda asobole okubalungamya

Ate nga ne Rev George Ninya naye akubiriza abavubuuka okunyikira okukola kuba obwavu yemu kunsonga lwaki abantu benyigidde mu bikolwa ebibawula Ku katonda era nabazadde nabasaba kuyigiriza ngabaana babwe okukola bakule ngabamaanyi ekyokukola ensi ebanguyire

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....