TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebizuuse ku byobugagga Bugingo by'ayita eby'ekkanisa

Ebizuuse ku byobugagga Bugingo by'ayita eby'ekkanisa

Added 10th May 2019

Ebizuuse ku byobugagga Bugingo by’ayita eby’ekkanisa

 Paasita Bugingo ate ku ddyo kye kizimbe okuli leediyo ne ttivvi ye eya Salt FM ne Salt TV.

Paasita Bugingo ate ku ddyo kye kizimbe okuli leediyo ne ttivvi ye eya Salt FM ne Salt TV.

TUZUDDE ebiwandiiko ebiraga engeri Paasita Aloysius Bugingo gye yaggyeeko mukyala we Teddy Naluswa Bugingo obwannannyini ku bintu bye bakoze bombi okuva 2008 omuli ekkanisa, ttivvi ne leediyo.

Ebiwandiiko tubizudde okuva mu kitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni ne bizinensi mu ggwanga ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB), nga biraga kalonda yenna akwata ku bwannannyini obw'ekkanisa eya House of Prayer Ministries International (HPMI) ne kkampuni ya Salt Media Group Companies Ltd eddukanya; Salt TV ne leediyo eya Salt FM.

Bugingo takomye ku kuggya mukyala we Teddy mu bwannannyini mu bizinensi wabula yakyusizza ne akawunta za bizinensi nga kati Teddy tayinza kussa mukono ku cceeke eggyayo ssente nga bwe gubadde nga tebannatabuka. Okunoonyereza kwe tukoze kuzudde ebiwandiiko ebikyali ebipya Bugingo bye yatutte mu kitongole ekya URSB ng'okukyusa obwannannyini bwa Salt TV ne Salt FM ng'abigobamu mukyala we Teddy Naluswa Bugingo n'abaana be; Doreen Gift Bugingo ne Winnie Treasure Bugingo.

Ebiwandiiko ebiggyako Teddy obwannannyini mu bizinensi ezo, bba Bugingo yabitutte mu kitongole ekya URSB mu January ne February 2019 nga yabitaddeko omukono gwe nga dayirekita wa kkampuni ezo. "Mu lutuula lwa kkampuni olwa January 11, 2019, kyasaliddwaawo era ne kikakasibwa okuggya Teddy Bugingo ku kifo ky'Omuwandiisi wa kkampuni.

Kyasaliddwawo era ne kikakasibwa nti Mutaawe Francis Victor alondeddwa mu kifo ky'omuwandiisi wa kkampuni," ekimu ku biwandiiko Bugingo kye yatutte mu URSB bwe kisoma. Ekiwandiiko kino kyawandiisibwa mu kkampuni URSB nga January 28, 2019, ne kikubwako sitampu ya URSB nga January 31, 2019.

AGGUDDEWO AKAWUNTI EMPYA Mu kiwandiiko ekirala, kiraga nti badayirekita ba kkampuni baatudde nga February 6, 2019 ne basalawo okuggulawo akawunta empya nnamba 6004513477 mu Barclays Bank ettabi ery'omu Ndeeba.

Akawunta empya Bugingo yekka y'asobola okugiggyako ssente okwawukanako ku akawunta enkadde ebbiri eza Barclays Bank mu Ndeeba: 6004929908 ne 6004929932 (essibwako ssente za ddoola zokka) nga zino zibadde zaggulwawo mu mannya g'abantu bana: Aloysius Bugingo, Teddy Bugingo, Doreen Gift Bugingo ne Winnie Treasure Bugingo wabula nga Bugingo ye mutwe omukulu nga ssente okuvaako ateekwa okussaako omukono n'omu ku balala abasatu.

Ekiwandiiko kino kyassiddwaako omukono gwa Aloysius Bugingo nga dayirekita nga kyawandiisiddwa mu URSB nga February 7, 2019 ne kissibwako sitampu ya URSB nga February 8, 2019. Ebiwandiiko biraga nga ebbanga lyonna okuva kkampuni ya Salt Media lwe yatandika mu 2013, ba Bugingo kkampuni eno esangibwa ku luguudo Sir Albert Cook mu Mbuubi Zone e Lubaga, babadde bagiddukanya wamu nga famire wadde nga ssente ezaagitandika zaakuhhaanyizibwa okuva mu kkanisa yaabwe eya House of Prayer Ministries International.

OBUZIBU BWAVA KU NGABANYA YA SSENTE

Omusumba Solomon Male alaze ebitabula Paasita Aloysius Bugingo ne mukyala we, Teddy Naluswa ne muwala waabwe Doreen Gift Kirabo nti byava ku ngabana ya ssente za kkanisa n'emikutu gyayo egy'amawulire.

Agamba nti bwe baatandika ekkanisa ne bagiwandiisa mu mannya gaabwe bonsatule, ate Bugingo bwe yafuna ssente mu kkanisa n'akola emikutu gya leediyo ne Ttivvi bo yabaleka bbali. Ebiwandiiko Male bye yalaze biraga ng'ekkanisa ya House of Prayer Ministries International bwe biri mu mannya gaabwe bonna era ekkanisa eyo n'etandika okufuna ssente ennyingi ez'amangu, wano Bugingo kwe kwagala okugaziya bizinensi ng'akola leediyo ne ttivvi.

Mu kusooka Bugingo yatambula bulungi ne famire ye era bwe yalaba nga ssente ziweze n'akola leediyo ya Salt mu 2013. Leediyo, Bugingo yagiwandiisa nga ye dayirekita okwo yazzaako ekkanisa ya House of Prayer n'aleka mukyala we Teddy ne muwala we Doreen ebbali ng'ate mu kusooka baali babitambuza bonna era nga n'amannya gaabwe galina okubeera ku leediyo.

Wadde nga babeera n'emigabo mu kkanisa ate ng'ekkanisa ku leediyo yawandiisibwa, Male alowooza ntikyandibadde kya buvunaanyizibwa n'amannya gaabwe gennyini okugassaako obutereevu kubanga bw'obabala nti ku migabo gy'ekkanisa mwe bafunira ku leediyo ate awo kibeera kitono nnyo.

Okumala eggobe mu kibya, Male agamba nti mu 2015, ekkanisa yayongera okufuna ssente n'ekola ne tivvi ya Salt kyokka eno Bugingo yekka y'aliko mu kugiwandiisa era ye Dayirekita.

Ne ku ttivvi, omukyala n'omwana baasigala bbali era nga balina kutabuka. Ekyasinga okwonoona embeera ate ye Teddy okuwulira ebya Susan Makula Nantaba akola ku mikutu gya Salt nti alina embeera ne Bugingo ate bwe yagattako n'ennyumba gye bazimbira Nantaba n'ateebereza nti ne ssente ezimu ziva mu bintu bye yakolerera ennyo ng'ate n'ebimu tebaabimuwandiisaamu, kyamusukkako ne batabuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.