TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obulwadde bw'ensigo busse eyali minisita wa Kabaka

Obulwadde bw'ensigo busse eyali minisita wa Kabaka

Added 10th May 2019

Obulwadde bw’ensigo busse eyali minisita wa Kabaka

 Omugenzi Bagunywa

Omugenzi Bagunywa

EYALIKO minisita wa Gavumenti ezeebitundu e Mmengo, Arthur Musisi Bagunywa 91, afudde oluvannyuma lw'okutawa-anyizibwa obulwadde bw'ensigo.

Yafudde ku Lwokuna ku ssaawa 4:00 ez'oku makya ng'abadde ajjanjabibwa mu ddwaaliro lya Platinum ku Buganda Raod mu Kampala. "Oweekitiibwa yali musaale nnyo era yeenyigira mu nteekateeka z'okuzzaawo Obwakabaka.

Mu 1993 Kabaka yasiima n'amulonda nga minisita w'ebyenjigiriza ate oluvannyuma yaliko minisita wa gavumenti ezeebitundu era nga we yawummulira yali minisita w'ebyobuwangwa ow'Obwakabaka. Abadde muwulize nnyo eri Nnamulondo," minisita w'ebyamawulire era omwogezi w'Obwakabaka, Noah Kiyimba bwe yategeezezza.

Bagunywa ye taata wa Florence Bagunywa Nkalubo ng'ono naye yaliko minisita wa Kabaka ow'abavubuka n'emirimu era Kiyimba yasaasidde nnyo famire n'emikwano ssaako n'Obwakabaka olw'okuviibwako omuntu ow'omugaso bwati.

YAKULEMBERAKO EKIBIINA KY'OLULIMI OLUGANDA

Kiyimba yategeezezza nti Obwakabaka bwakwongera okutegeeza Obuganda enteekateeka z'okuziika munnannimi ono eyaliko ssentebe w'ekibiina ky'olulimi Oluganda okuva 2002- 2011. Ku bukulu buno yadda mu bigere bya Polof. Livingstone Walusimbi ng'ono yafa omwaka oguwedde. Bagunywa yasikirwa Dr. Adam Kimala eyawummudde mu 2018, olwo entebe n'eweebwa Fred Lukabwe Kisirikko.

Bagunywa we yaviira ku bwassentebe bw'ekibiina ky'olulimi Oluganda ng'ekibiina kifulumizza Enkuluze (Dictionary) y'olulimi Oluganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...

Dorothy Nambi ng’ayigiriza omwana alina obukosefu okulabirira ennimiro.

Kw'olabira omwana alina obu...

Alwawo okwogera. Tasobola kuyiga bintu bya bulijjo ng’okuseka, okuba n’emikwano. lAtya nnyo naddala abantu abatali...

HAJJ SABIITI MUYIMBWA W’E KAYUNGA: Puleesa yanziba amaaso Kati emyaka 15 siraba.

Engeri okulonda ne Covid - ...

ABAAWANGUDDE n’abaagudde mu kalulu akaakaggwa bangi baakavuddemu balwadde entunnunsi. Ku bano bw’ogattako abo okweraliikirira...

Omukyala ng’akuuta bbebi ebinnyo.

Kozesa kigerekyampisi okuvu...

EBINNYO bwe bulwadde obukwata abaana abali wakati wa wiiki emu n’emyezi esatu. Omwana alwadde ebinnyo ebibuno biba...