TOP

Ebizuuse ku muwala eyattiddwa e Matugga

Added 10th May 2019

Ebizuuse ku muwala eyattiddwa e Matugga

 Omugenzi Kanyi

Omugenzi Kanyi

EBIPYA byongedde okuzuuka ku muwala eyattiddwa e Matugga oluvannyuma lwa muganzi we okumutemako omutwe n'aguzinga mu bulangiti n'aleka ng'agusibidde mu nnyumba.

Kigambibwa nti mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri lwa wiiki eno, Nicholas Tumuramye 25, yazze ku muganzi we Hellen Kanyi 23, n'amutta mu bukambwe obw'ekitalo bwe yamusazeeko omutwe n'aguzingira mu bulangiti n'aleka ekiwuduwudu nga kigahhalamye mu kibembe ky'omusaayi.

Ebyakazuukawo biraga nti, omugenzi Hellen Kanyi abadde mufumbo era bba abadde yamupangisiriza omuzigo ku kyalo Lwadda ‘A' e Matugga. Hellen okuttibwa Tumuramye ku Mabanda e Matugga kigambibwa nti, yabadde avudde Lwadda ‘A', bba gwe yazaalamu n'omwana gy'abadde amupangisiriza.

Edward Sajjabbi agamba nti ye bba wa Kanyi kati omugenzi yategeezezza nti, yamupangisiriza ku nnyumba za Esther Ahimbisibwe e Lwadda era abadde amulinamu omwana omu.

Sajjabbi yategeezezza omusasi nti ye ddereeva mmotoka era mukozi wa safaali ng'oluusi emirimu gimukwata n'amala kumpi mwezi mulamba nga tali waka. Yagasseeko nti, amawulire g'okufa kwa Kanyi gaamusanze mu bitundu by'e Nakasongola. Agamba nti yeewuunya engeri Kanyi gye yafuddemu era yeebuuza abakazi kye baagala ku nsi nti, kuba abadde awa Kanyi buli kimu.

Sajjabbi era yateegeezezza nti babadde bategeka kukyala gye bazaala Kanyi e Nasenyi mu disitulikiti y'e Mbale mu June w'omwaka guno.

ABADDE AGATTIKA ABASAJJA Omusasi bwe yatuuse e Lwadda ‘A', omugenzi gy'agambibwa nti gy'abadde abeera era gye yavudde okugenda kyalo Mabanda gye baamuttidde, Oliver Birungi eyagambye nti mukwano gwa Kanyi yategeezezza nti ekizibu mukwano gwe abadde agattika abasajja.

Yagambye nti yagezaako okumubuulirira nga tawulira. Okusinziira ku Birungi, ku basajja bonna Kanyi b'azze ayagala, Tumuramye ye musajja amubadde okumpi kyokka Kanyi abadde agamba nti Tumuramye alina ebbuba lingi ate ng'akimanyi bulungi nti mufumbo. Joseph Ssembatya Sunday: Tuzaala abaana abawala naye tetumanyi kiki kye babeera balowooza nga bakuze.

Abaana abawala baleekere awo okugattika abasajja, bafune omusajja omu amuwa emirembe okusinga okufuna agenda okumukolako obutemu. Christopher Kibirige: Naye simanyidde ddala bakazi kye baagala.

Kubanga bw'obeera nga olina omusajja kiki ekinaawuuza okumugattako akavubukavubuka kaako kabadde katiisatiisa n'okumutta n'atalabuka n'atuuka okugenda okusula ewaako.

Denis Kasule: Nkubirizza abawala n'abakazi okuyiga okwekengera n'okwegendereza nga bagattika baganzi baabwe. Nsuubira nti obutakkaanya bw'avudde ku mukazi kulaga muvubuka nti, amukooye ate nga ye akyayagala. Abantu boogedde

OMUSIGUZE ABADDE ALINA EBBUBA Juliana Nakabugo muliraanwa wa Kanyi bwe babadde bapangisa ku nnyumba za Ahimbisibwe e Lwadda ‘A' yagambye nti abadde alaba buli kimu ekibadde kigenda mu maaso era n'agattako nti Tumuramye abadde atera okujja awaka naye buli lw'abadde ajja babadde badda mu kuyomba Kanyi n'atuuka n'okutegeeza Tumuramye nga bw'amukooye olw'ebbuba. "Lumu mba mpita ewaabwe ngahhenda ku dduuka ekiro ku ssaawa nga 2:00, nabasanga bayomba kwe kubabuuza ekibadde omusajja yahhamba nti ‘omukazi ono nja kumutta' kuba nkooye obwenzi bwe, Nange kwe kumubuuza nti ggwe tokimanyi nti mufumbo, kwe kunziramu nti ‘ebyo saagala kubiwuliza" ebyo Nakabugo bye yannyonnyodde.

Yagambye nti Tumuramye bwe yagenda, ye (Nakabugo) kwe kusaba Kanyi okwegendereza nti ayinza okumutuusaako obulabe wabula yamuddamu nti, Tumuramye talina ky'ayinza kumukola.

LANDIROODI AYOGEDDE Esther Ahimbisibwe nnannyini nnyumba omugenzi Kanyi kw'abadde asula, yagambye nti engeri amaka ge gye gatunudde mu nnyumba z'abapangisa, tamanyi musajja abadde akubira Kanyi amasimu buli kiro wabula nga buli lw'abadde akwata essimu babadde bayomba buyombi okutuusa ye landiroodi bwe yabuuza Kanyi lwaki akwata amasimu g'omusajja amumalako emirembe.

Bwe yabadde amusiibula yamugambye nti alina gw'agenda okulaba naye agenda kukomawo ku makya era yabadde tasuubira nti, agenda wa musajja mulala. Yagasseeko nti lumu Tumuramye yajjako awaka kyokka Kanyi n'amugoba ng'agamba nti amukooye.

Ensonda mu poliisi y'e Matugga zaategeezezza nti mu kunoonyerezza kwe bakoze okuzuula omutemu bateebereza nti, Tumuramye yaddukidde mu disitulikiti y'e Mitooma. Okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyabbye enkoko bamukubye mi...

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...

Akatale k'e Wandegeya nga bwe kafaanana.

Abasuubuzi b'e Wandegeya be...

ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala...