TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ezudde omulambo oguli mu ssuuti mu kibira

Poliisi ezudde omulambo oguli mu ssuuti mu kibira

Added 10th May 2019

Poliisi ezudde omulambo oguli mu ssuuti mu kibira

ABATEMU abatannategeerekeka basse omusajja mu bukambwe omulambo ne bagusuula ku kibira. Baaguzudde mu kibira ky'e Nswanjere mu ggombolola y'e Muduuma mu Mpigi ku luguudo lw'e Mityana.

Abaana abaabadde bagenda e Muduuma be baalabye omulambo gw'omusajja ng'ayambadde esuuti enzirugavu nga gukwekeddwa mu nsiko ne batemya ku batuuze abaayise poliisi y'e Jjeza.

Poliisi y'e Jjeza ne Mityana bazze ne basanga omulambo nga gutandise okuvunda nga ne ffeesi ye tekyategeerekeka. Yabaddeko ebisago bingi ku mubiri nga n';amagulu gamenyese nga kirabika abaamusse baasoose kumutulugunya ne bamutuga. Abatuuze baategeezezza nti omusajja ono tamanyiddwa mu kitundu nga kirabika abaamusse balina gye baamuwambye.

Endabika y'omusajja wa buvunaanyizibwa nga yandiba nga yawambiddwa okuva mu kitundu ekirala ne bamusuula mu kibira nga bamaze okumutta.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Joseph Tulya yagambye nti abatemu bandiba ng'omugenzi bamuggyeeko ebimwogerako olwo ne bamusuulawo n'asaba abaabuliddwaako omuntu waabwe okugenda mu ddwaaliro e Mityana bakebere ku mulambo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...