TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amelia alabudde okuggala amakampuni agakyakola waragi w'omu buveera

Amelia alabudde okuggala amakampuni agakyakola waragi w'omu buveera

Added 10th May 2019

Yagambye nti amakampuni agakyalemedde mu kukola omwenge gw’omu buveera agenda kufaafaagana nago kuba baaweebwa dda ekiragiro ekibayimiriza okumukola ng’era ebikwekweto bigenda mu maaso ng’ekkolero erinaakwatibwa lyakuggalwa.

 Minisita Amelia mu kutongoza kkampuni ya Premium Distillers Limited e Kagoma.

Minisita Amelia mu kutongoza kkampuni ya Premium Distillers Limited e Kagoma.

MINISITA w'ebyamakolero, Amelia Kyambadde  alabudde amakampuni agakyakola walagi w'omu buveera okukikomya mbagirawo kuba agenda kufaafaagana nago  n'asaba  n'abavubuka  okwettanira amakolero ga bamusigansimbi okusobola okulwanyisa ebbula ly'emirimu.

Kyambadde   yasinzidde ku mukolo gw'okuggulawo  kkampuni ya  Premium Distillers Limited  esangibwa e Kagoma mu minisipaali y'e Nansana mu disitulikiti y'e Wakiso ssaako okutongoza walagi w'obucupa  oluvannyuma lwa Gavumenti okuwera ow'omu buveera.

Yagambye nti amakampuni agakyalemedde mu kukola omwenge gw'omu buveera agenda kufaafaagana  nago kuba baaweebwa dda ekiragiro ekibayimiriza okumukola ng'era ebikwekweto bigenda mu maaso ng'ekkolero erinaakwatibwa  lyakuggalwa ssaako okutwala abalikulira  mu mbuga z'amateeka

Yagambye  walagi w'omu buveera abadde ku bbeeyi layisi  ng'abavubuka bamwettanira ekivaako obubenje n'obutabanguko mu maka obususse.

Yasiimye  Pulezidenti Museveni olw'okussaawo emirembe egiri mu ggwanga  egivuddeko bamusigansimbi okwongera okujja wano n'akuutira abavubuka  ekwettanira  bamusigansimbi okusobola okumalawo ebbula ly'emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....