TOP

'Nteekwa okuwasa Suzan ekiba kibe'

Added 11th May 2019

“Nze sigenda kudda wa Teddy ne bw'akola atya sisobola kudda mu nnyumba gye yali anzitiramu, nnina omukazi era ng’enda ku muwasa nammwe mujja kumulaba, abanansondera muli wa” Bugingo bwe yagambye. “Kagwake, keetonnye, sikyadda mabega, mwenna kati mukimanyi tekikyali kyama, nafuna omukazi omulala era ngenda kumuwasa essaawa yonna.”

 Suzan afuuse Ndibassa ne muganzi we Bugingo.

Suzan afuuse Ndibassa ne muganzi we Bugingo.

EKKANISA yawuniikiridde ate oluvannyuma n'asaanikirwa enduulu ey'oluleekeleeke, OMUSUMBA Aloysius Bugingo bwe yalangiridde nti "ekiba kibe, maliridde okukuba embaga gwe kiruma yette!".

Bugingo era agambye nti ababadde balowooza nti wakyaliwo ku suubi ye okudding'ana ne mukyala owempeta Teddy Naluswa Bugingo, kye kiseera bave mu kuloota kubanga ye mu bulamu bwe tadda mabega, talina nsisi ate tasaaga

" Nze Katonda yantonda kugenda mu maaso ssi kudda mabega, y'ensonga lwaki nkola eby'amagero", Bugingo bwe yategeezeza ng'asinziira ku kituuti ku kkanisa ye eya House of Prayer Ministries International.

Bugingo yagambye abagoberezi be nti, agenda kukuba embaga makeke ekiba kibe.

Yababuuzizza oba nga banaamusonderako ku ssente z'embaga, abamu ku bagoberezi ne bakoteka emitwe wansi kyokka abalala ne basaakaanya nti ‘yeeeee musumba' okwo ne bagattako enduulu.

Bugingo yagambye abagoberezi nti, waliwo empapula ze yalabye ku mikutu gya yintanenti eziraga okwawukana kwe ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo n'agamba nti, empapula ezo si ntuufu kyokka balindirire essaawa yonna aleeta entuufu era ajja kuziwaako ne Naluswa.

"Nze sigenda kudda wa Teddy ne bw'akola atya sisobola kudda mu nnyumba gye yali anzitiramu, nnina omukazi era ng'enda ku muwasa nammwe mujja kumulaba, abanansondera muli wa" Bugingo bwe yagambye.

Bwe yamaze okubategeeza ebyo ne bakkiriza nti bajja kumusondera n'akola katemba nga bw'ababuuza nti ‘Ndeete ndeete' ne basaakaanya nti. ‘Leeta' awo n'atulika n'aseka.

Bugingo azze asuubiza abagoberezi be okubanjulira omugole wabula buli lw'ajja mu kusaba baba basuubira nti anaamubalaga era buli lw'ababuuza nti ndeete baba bulindaala nga balowooza nti gw'agenda okubanjulira .

Yasoose kuddamu kwetondera bagoberezi be ne Bannayuganda olw'ebigenda mu maaso nti bamusonyiwe kubanga akimanyi nti nabo bayita mu buzibu kumpi bwe bumu bw'ayitamu.

Bugingo olwamaze okwetonda n'asumulula n'ategeeza nga bw'atakyayinza kuddira mukyala we Teddy Naluswa kubanga yasalawo kugenda n'abasumba abamuwalana obwedda b'ayita abafalisaayo ababadde baagala okumusanyaawo .

Yagasseeko nti mukayala we ne muwala we Doreen Kirabo Bugingo baasukka okumuswaza bwe badda ku mikutu gy'amawulire nebatandika okumuyita omubbi era omwenzi .

" Omwana owange n'anzirako n'ampita omwenzi lukulwe, kati olwo ye abeera yaggya atya? kubanga nze ne Teddy twagattibwa mu bufumbo obutukuvu mu mwaka gwa 2008 kyokka ye Doreen twamuzaala mu mwaka gwa 1992 ekitegeeza nti naye twamuzaala mu kikolwa kya bwenzi era okwogera ebyo teyamala kukirowozaako kubanga amagezi alina matono nga nnyina " Bugingo obwedda bw'awanda omuliro.

Bugingo yagambye nti, Teddy yamuwaayira nga bw'amukaka okwawukana era n'alaga n'empapula enjingirire ng'ayagala bamusaasire n'atamanya nti, yeesimira bunnya kubanga kati agenda kulaba ku mpapula z'okwawukana entuufu era essaawa yonna zimutuukako kubanga ye yakyerangirirako ng'omukazi wa katonda nga bwe yeeyita .

"Kagwake, keetonnye, sikyadda mabega, mwenna kati mukimanyi tekikyali kyama, nafuna omukazi omulala era ngenda kumuwasa essaawa yonna." Bugingo bwe yategeezezza.

"Nze Teddy ne bwakola atya, k'ayogere mu mawulire okusuula enjuba sisobola kudda mu nnyumba y'e Kitende gye yali anzitiramu ngenda kubanjulira omukyala gwe ng'enda okuwasa essaawa yonna nammwe mumulabe" Bugingo bwe yategeezezza abagoberezi mu bumalirivu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Micheal Kinene Akomyewo na ...

Micheal Kinene Akomyewo na Nkuba mpya Omuyimbi Micheal Kinene akomyewo na nkuba mpya oluvannyuma lw'okumala...

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...