
Faaza Simon Lokodo ne Paasita Bujingo
Yagambye nti ekitawaanya Lokodo, ssente ze yamusuuza mu ddiiru gye yali aluse ey'okuwandiisa amakanisa g'Abalokole ze yali ayagagala okufuna mu gavumenti era yeefuula amunoonya ng'alinga atamanyi wa kumuggya.
Yagambye nti, Lokodo ave mu nsonga z'amakaage kubanga talina ky'amanyi ku nsonga za bufumbo n'amugamba nti bw'aba alina kye yeebuuza kyonna ku nsonga z'obufumbo agendeyo ne mukazi we abawabule.
Kyokka kimanyiddwa bulungi nti, Lokodo Ffaaza eddiini y'Obukatoliki temukkiriza kuwasa wabula mu ngeri ey'okumusomooza, Bugingo yamugambye amutwalire mukazi we ababangule mu by'obufumbo.
"Oyo Lokodo amapalana lwakuba namusuuza omunyago n'abasumba abalala bwe baali baaagala okusanyanyawo ekkanisa nga beerimbise mu kuziwaandiika ate ang'endeko mpola kubanga nsirikidde bingi n'ebyamutuukako e Kalangala mbimanyi nja kumwabya" Bugingo bwe yalabudde Lokodo era n'amuyimbira n'akayimba ‘amaanyi tolina nga wesiba ku bintu' olwo enduulu n'evuga .
Minisita Lokodo bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti, tatera nnyo kwagala kukaayana na bantu batalina buvunaanyizibwa nga Bugingo n'agamba nti, omukulembeze w'ekkanisa yandibadde akola ebintu abagoberezi bye basobola okuyigirako si kusattululula bufumbo bwe olw'obusonga obutaliimu n'amuwa amagezi akole ebintu abagoberezi bye basobola okuyigirako okunywerera ku Kataonda.