TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamateeka bakubye ebituli mu bya Bugingo okwawukana ne Teddy

Bannamateeka bakubye ebituli mu bya Bugingo okwawukana ne Teddy

Added 12th May 2019

BANNAMATEEKA batapuse eky’Omusumba Aloysius Bugingo okukyusa obwannannyini bw’ekkanisa n’emikutu gya Salt Media bwe yaggye mukazi we Teddy Naluswa Bugingo ne bawala baabwe Winnie Tresure Bugingo ne Doreen Kirabo Bugingo.

 Paasita Bugingo

Paasita Bugingo

Steven Ssenkeezi agamba nti, Bwe kiba nga House of Prayer yawandiisibwa nga kkampuni kitegeeza nti, dayirekita omu tasobola kutuula n'asalawo okugoba omuntu mu kkampuni.

Akulira kkampuni ne bw'oba nga ggwe asinga emigabo emingi mu kkampuni tosobola kusalawo ku lwa kkampuni ng'olukiiko olufuzi terutudde kusalawo.

Buli kintu ekisalibwawo mu kkampuni kirina kuba nga kikkiriziganyiziddwaako olukiiko olufuzi era kino kissibwa mu buwandiike ne kitwalibwa mu kitongole kya Gavumenti ekikola ku biwandiiko ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB).

Asuman Basalirwa; Olukiiko olufuzi nga terunnatuula, omuwandiisi wa kkampuni asooka kuwandiikira badayirekita baayo n'amutegeeza ku lukiiko luno ng'ekyabulayo ennaku.

Ateekwa okubategeeza ebigenda okuteesebwako era kino bwe kitakolebwa, ebisaliddwaawo bibeera wabweru w'amateeka.

Abatuula ku lukiiko olufuzi era basobola okubeera nga be balina emigabo mu kkampuni naye omuntu omu tasobola kusalirawo balala nga tebasoose kutuula ne bakikkaanyaako.

Radislus Rwakafuzi, omukyala bw'aba ng'asobola okulaga kkooti n'agikakasa nti, okumuggyako emigabno gye mu kkampuni kyakolebwa mu mutima mubi awo asobola okuggulawo omusango mu kkooti.

Era bwe kiba nga waliwo kkampuni eyasooka okuggulibwawo ng'alinamu emigabo ne gimuggyibwako oba kkampuni n'emala gasaanyizibwawo era akyasobola okugenda mu kkooti kubanga olukiiko olufu olwa kkampuni bwe luba terwatuula kusalawo nti kkampuni eggalwe, omuntu omu yekka takkirizibwa kusalawo ku lulwe n'aggalawo kkampuni ku lwa banne.

Naye engeri gy'eri nti, kkanisa kiba kizubu okuba nga baagiwandiisa nga kkampuni.

Ekkanisa zitera kuwandiisibwa nga ekitongole ekya nnakyewa (NGO) naye ate zirina okubeera ne bammemba abali ku lukiiko olufuzi nga ne wano bammemba basooka kutuula ne basalawo ekirina okukolebwa olw'obulungi bw'ekkanisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...