TOP

Abeebijambiya batemye ow'e Mityana

Added 13th May 2019

Abeebijambiya batemye ow’e Mityana

ABEEBIJAMBIYA balumbye amaka ga makanika wa firiigi ne bamutemaatema oluvannyuma ne babba emmotoka ye ey'ekika kya Harrier nnamba UBE 263M.

Isaac Nsumba 29 (wansi), omutuuze we Kikumbi mu Munisipaali ye Mityana oluvannyuma yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago ku Ssande gye yabadde atwaliddwa ng'asigaddeko kikuba mukono.

Nnamwandu Sauda Nankabirwa naye abatemu gwe babbyeeko essimu yategeezezza nti abeebijambiya baabalumbye mu kiro ekyakeesa ku Lwokuna nga baasoose kuggulawo luggi lwa nju. Nnamwandu yategeezezza nti ku ssaawa 7:00 ez'ekiro baawulira alamu y'emmotoka ng'ekaaba wabweru w'esuzibwa.

Annyonnyola nti, "oluvannyuma bba yavaayo n'alingiza mu ddirisa kyokka bwe yafuluma mu luggi, abatemu baali baayingidde dda mu nju." Nti yabalwanyisa kyokka ne bamutema.

Mu kulaajana, nti yawamattuka gye yali yeekukumye, kyokka abatemu olwamulaba ne bamulumba. "Bantema ejambiya bbiri ku mutwe nga bwe bansaba ebisumuluzo by'emmotoka. Olwabifuna ne bavuga ne bagenda. Baamuddusizza mu ddwaaliro e Mulago gye yafiiridde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...