TOP

Yiika z'emmwaanyi ettaano tezinjuza

Added 13th May 2019

Yiika z’emmwaanyi ettaano tezinjuza

CHARLES Matovu Lwanga mulimi wa mmwaanyi era mulunzi wa mbizzi, omulimu gw'akoze kati emyaka egisoba mu etaano oluvannyuma lw'okuwummula emirimu gya gavumenti. Matovu musajja amanyiddwa mu bulimi era bw'otuuka mu kibuga ky'e Kyotera takisi we zikussa, n'obuuza ewa Matovu aba bodaboda abaliwo basobola bulungi okukutuusaawo kuba y'omu ku balimi abeekolamu omulimu okuyamba okulaba nga basobola okwetuusa ku ssa ly'abalimi n'abalunzi ab'amaanyi.

Alina ettaka awali amaka ge lya yiika ttaano nga wano w'alundira embizzi era nga Bukedde we yatuukidde ku faamu eno ng'embizzi ezisinga azitunze nga bw'eri bizinensi nti alina okutunda ate n'azzaawo wabula nga waliwo ezizaala ezaasigaddewo

BukeddOkulima emmwaanyi Matovu agamba nti alina emmwaanyi yiika ttaano era ng'azirabirira mu ngeri ey'enjawulo okukakasa nti zibeera zirabika bulungi ekiseera kyonna n'okusobozesa okussaamu emiramwa eminene ate nga miramu bulungi okufuna akatale ak'amaanyi. "Okulima emmwaanyi okw'omulembe kutandikira ku kusimba nga nze nsima ekinnya kya ffuuti 2x2 n'amabanga ga ffuuti 10x10 olwo ne ntabulamu ekigimusa kya nakavundira ne ntabulamu ettaka ne kibeerawo wiiki nga nnya olwo ne nzisaamu endokwa", Matovu bw'agamba.

Bw'amala okusimba endokwa ze, aziwembera nga wano aziteerako ebikoola naddala eby'ebisansa okutangira akasana okuzookya okuziremesa okukula obulungi ate mu bwangu. Bwe zimala okukwata ne zituuka mu buwanvu bw'evviivi olwo n'aziweta okukola amatabi. Agamba nti, ku buli muti naddala nga mukulu alekako amatabi 3-4 nga wano zibeera zikyasobola okugaliisa obulungi nga kino kikuyamba okufuna ekiwera mu mmwaanyi zo nga zitandise okubala.

Okusinziira ku Matovu, afuba okubikka emmwaanyi ze mu kifo ky'okulima buli kiseera kuba emmwaanyi ziriira ku ngulu nga buli lw'olima otema emirandira ekigenda okuzikosa mu nkula n'embala yaazo kikufiirize amakungula.

Matovu era yasima nsalosalo mu musiri gwe ky'agamba nti yakikola okusobola okukwata mukoka abeera akulugguka engeri omusiri gw'emmwaanyi ze gye guli ku kasozi nga kino kiyamba emmwaanyi okusigaza amazzi ne ziyita obulungi mu kiseera ky'ekyeeya.

Amakungula Matuvu annyonnyola nti, "Okusinziira ku mabanga ge tumala, yiika egendamu ebikolo 418, nga wano omuti ssinga gumala okukwata obulungi mu myaka ng'asatu n'okudda waggulu esobola okuvaako endebe emu n'endebe emu n'ekitundu".

Sizoni ewedde yakungula kkiro 3000 eza kibooko ze yakuba kase n'afunamu kkiro 1,530 ze yatunda ku 5,200/- buli kkiro n'afunamu 7,956,000/-. "Nzize nninnya era kino kyansanyusa olw'okuba nti neewaddeyo kuba mu kusooka nali sirabirira bulungi mmwaanyi zange naye bwe nakizudde nti mulimu ekyama ndaba nga nsobola okufunamu ekiwera kuba olaba tufunye kino kitegeeza ssinga nnyongeramu amaanyi tusobola okufunamu ekisingawo", Matovu bw'agamba.

Agamba nti, alina we yafunye ettaka nga yatandise okusimba yiika endala emu n'ekitundu okulaba ng'ayongera ku ttaano z'alina era ng'alina enteekateeka ez'amaanyi ku mmwaanyi. Okweyongerako amagezi Agamba nti amagezi buli mwaka oguyitawo abaako ebipya by'ayongera mu ndabirira y'emmwaanyi ng'amagezi agaggya mu kutambula n'okwongera okunoonyereza okuva mu balimi bannange naddala abansingako ku ngeri bbo gye bakikola era nga waliwo mukwano gwange gwe ntambula naye.

Mu ngeri y'emu mpuliriza nnyo pulogulaamu y'ekitongole ekitwala eby'emmwaanyi mu Uganda ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) ebeera ku leediyo ng'eno nayo ennyambye nnyo okulaba nga nyongera ku ngeri gye ntambuzaamu essamba yange kuba erambika engeri y'okusimba n'okulabirira okutuufu.

Famire Mukyala wa Matovu yeenyigira butereevu mu mirimu gy'okulima n'okulunda gye bakola ate nga n'abaana atambula nabo naddala mu kukola, okunoga n'okwanika. Muky. Harriet Lwanga agamba ye asinga kubeera mu bikolebwa awaka naddala embizzi nga y'avunaanyizibwa ku byonna ebizikwatako okulaba nga zitambula bulungi.

Agamba nti baatandika okulunda embizzi mu 2000 nga bakizudde nti zisobola okubawa ssinga zirabirirwa obulungi anti zizaala mangu ate nga n'okukula era zikula mangu nga n'abaguzi babeerawo. "Mu kiseera kino tulina embizzi 10 enkulu nga ziri mawako nga zino tuziwa emmere ku makya n'akawungeezi era n'ennyumba tuzirongoosa emirundi ebiri. Ekirungi nti buli ky'oziwa zikirya omuli omuddo, ebikuta n'ebirala ne tuziwa n'emmere entabule", muky. Lwanga bw'agamba.

Tusinga kutunda bwana nga ku myezi ebiri tuzitunda 100,000/- wabula nga n'endala ku mitendera egy'enjawulo tuzitunda okuli n'ez'amawako era twatunze embizzi 48 gye buvuddeko ng'eyeggwako tugitunda kakadde kalamba. "Ndi musanyufu mu kulunda kuno kuba tukwatagana era tukolera wamu mu buli kimu nga famire kye ndaba nga kitutwala mu maaso", muky. Lwanga bw'agamba. Agamba nti okusoomoozebwa kwe balina mu mbizzi kwa bulwadde naddala omusujja kuba tegulina ddala.

Ssente z'emmwaanyi tusinze kuzitunuulira ku nsonga ya kusasula fiizi kyokka nga tusooka kutoolako ssente za ffaamu mu kusasula abakozi, okutereka, okubaako bye twongera okugula gamba ng'ettaka n'enteekateeka y'okufukirira n'ebirala era ng'erina akawunti kwe zissibwa. Wabula naffe ng'abantu twesasula wadde nga tubadde tetunnaba kufuna mutemwa gwa nkalakkalira naddala mukyala wange naye afunayo akantu akamuwa ku ssanyu n'okumanya nti omulimu gw'akola guvaamu ssente era gusasula.

Abakozi Mu kiseera kino, Matovu alina abakozi bataano abakola nga mu mmwaanyi mukolamu abakozi bana ate mu kulunda omukozi omu olwo nabo ne beenyigiramu nga mu mbizzi ffe fennyini ababyekolera.

Abakozi bano abasasula mu nkola ya kutegeeragana kitundu kye bagenda okukola ng'agamba nti yalaba ng'okusasula omwezi abamu bakongola ne batakola ate nga balina okusasulwa ate ye akola mu nsolo asasulwa mwezi 60,000/-.

Ekitundu okumufunamu Matovu agamba nti, abantu mu kitundu kino abasinga babadde bettanidde nnyo okusimba kalittunsi kuba tebabadde na kyakulabirako ku kulima bintu birala. "Nze nasimbako kalittunsi kyokka nakizuula nga temuli ssente kuba yiika ya kalitunsi nagifunamu 700,000/- era namutemamu kyokka nga mu yiika y'emmwaanyi nsobola okufunamu obukadde obusoba obubiri omwaka era nfuba okulaba nga njagazisa abantu abalala okulima emmwaanyi", Matovu bw'annyonnyola.

Ng'ogyeeko okuggya ku ffaamu okuyiga, abantu b'ekitundu bafuna emirimu mu ssamba ya Matovu nga mu kiseera ky'okunona abantu abawera okuli n'abaana b'essomero bajja okunoga nga buli kasero bakanogera 3,000/-. "Nakwataganye n'amasomero nga hhenda nsomesa abaana abato n'okubaleeta ku ffaamu okwongera okubayigiriza n'okubaagazisa okulima emmwaanyi kuba nakizudde nti olw'okubulwa eby'okulabirako kibalemesa okuyiga obulungi n'okwenyigira mu kulima nga bakuze.

Okukuuma ebitabo Matovu buli ky'akola akiwandiika okumanya ky'ayingizza n'okufulumya nga kino agamba nti akikola kuba alina okumanya oba akola amagoba ate nga n'omutwe tegusobola kutereka buli kimu kibeera kikoleddwa.

Mu ngeri y'emu kiyamba okutondawo obwerufu naddala eri aba famire okumanya bye tukola ate n'okuyigiramu kuba bw'olaba ng'okola bulungi kikuzzaamu amaanyi ate bw'obeera tokoze bulungi n'osobola okuzuula ekitaatambudde bulungi.

Okusoomoozebwa Ssente z'okukozesa kimu ku bisoomooza Matovu kuba mu biseera ng'emmwaanyi tezengera tabeera na ssente za kukozesa kyokka nga waliwo emirimu egirina okukolebwa gamba ng'okolima n'ebirala.

Okusoomoozebwa okulala kwa mazzi kuba mu kiseera ky'ekyeya akasana kayisa bubi essamba ye anti tannaba kutandika kufukirira kusobola kukayitamu wadde ng'afuba okubikka. Enteekateeka z'omumaaso Matovu alina enteekateeka y'okwongera amaanyi mu mmwaanyi okulaba ng'afuuka omulimi ow'okulabirako eri abalala bonna mu kitundu kino, okulaba ng'akyusa endowooza z'abalimi mu kitundu mu kulima emmwaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwala gwe njagala ang'amb...

NNINA emyaka 23 ate omuwala gwe njagala alina emyaka 19. Omuwala ono kati angamba nti simalaako kubanga tetumalira...

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.