TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC etiisizza okufaafagana n'abasuubuzi abaagala okubalemesa okwekalakaasiza mu Kampala

FDC etiisizza okufaafagana n'abasuubuzi abaagala okubalemesa okwekalakaasiza mu Kampala

Added 13th May 2019

FDC etiisizza okufaafagana n'abasuubuzi abaagala okubalemesa okwekalakaasiza mu Kampala

ABA FDC batiisizza okufaafagana n'abasuubuzi b'omu Kampala abasabye poliisi okugaana okwekalakaasa kwonna mu kibuga wakati nga bagamba nti bafiirwa ssente nnyingi buli lwe kubaayo.

Mu ngeri y'emu FDC era eyanukudde abamu ku banene ba DP n'ab'omukago gw'ekibiinaa kino abakkukkuluma olw'enkolagana eyatandikiddwaawo wakati w'omubaka Robert Kyagulanyi ow'ekisinde kye ‘People Power' n'ab'omukago gwa FDC abeeyita ‘Peoples government'' (FDC) n'egamba nti gwe kyanyize wa ddembe okukola ky'ayagala kuba Bobi Wine muntu mukulu eyesalirawo.Aba DP abamu balangidde FDC okwefunza omuntu wabwe Bobi Wine.

Bino omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda yabitegeezezza bannamawulire ku kitebe ky'ekibiina e Najjanankumbi. Kino kidiridde abamu ku basuubuzi b'omu Kampala abaakulembeddwa Yasin Ssematimba okwemulugunya ku kwekalakaasa kwa bannabyabufuzi okutata mu kibuga kwe bagamba nti kugotaanyizza eby'obusuubuzi era kubafiriza. Abasuubuzi bano baasabye omuduumizi wa poliisi Okoth Ochola okutangira okwekalakaasa kwonna mu Kampala wakati.

Kyokka Ssemujju Nganda yagambye nti poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe kati byegattiddwaako obumu ku bubinja bw'abantu abaagala okulemesa Bannayuganda okulwanirira eddembe lyabwe. Yagambye nti obumu ku bubiina buno kuliko n'akabasuubuzi abaagambye nti baagala okwekalakaasa mu Kampala wakati kuwerebwe olwo  Ssemujju kwe kwebuuza oba abagaana okwekalakaasa ekibuga bakirinako ekyapa.

‘'Tukyetegereza ebigendererwa byabwe (eby'abasuubuzi) era bwe tunazuula nti byakutyoboola ddembe lyaffe tujja kufaafagana'' Ssemujju bwe yaambye. Ku nsonga z'aba DP abamu abawakanya enkolagana ya People Power ekikulirwa Bobi Wine n'e Peoples Government abakulemberwa Col. Kiiza Besigye, Ssemujju yagambye nti Bobi Wine muntu mukulu eyesalirawo n'agamba nti abakiwakanya bagende ku poliisi bwe kiba kibanyiga.

FDC era yagambye nti tegenda kwetaba mu nsisinkano y'ebibiina by'obufuzi ebirina ababaka mu palamenti eya IPOD ng'egamba nti NRM eremeddwa okutereeza embeera y'ebyobusuubuzi.FDC yagambye nti egenda kugenda maaso kutalaaga ebizinga by'e Buvuma n'e Kalangala ng'ekunga abantu okuwakanya embeera y'ebyobufuzi  eriwo mu ggwanga gye baayogeddeko nti mbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...