TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Buyondo eyali besitimaani wa Bugingo amwanise

Paasita Buyondo eyali besitimaani wa Bugingo amwanise

Added 14th May 2019

EYALI kalabaalaba (beesitmaani) wa Paasita Aloysius Bugingo ng’awasa Teddy Naluswa amuwadde amagezi yeesonyiwe eby’okuwasa Nantaba kuba naye bajja kwawukana bubi nnyo.

 Bugingo ne Buyondo

Bugingo ne Buyondo

Paasita Herbert Buyondo owa Victory Church e Namungoona agamba nti ye yali kalabaalaba wa Bugingo ng'agattibwa ne Teddy ng'omukolo gwali mu kkanisa ya Victory Christian Centre mu Ndeeba ewa Dr. Joseph Serwadda nga December 20, 2003.

Buyondo agamba nti yasooka okulabagana ne Bugingo mu 1998 nga mu kiseera ekyo yali aweereza ku leediyo ya Impact ate Bugingo nga y'omu ku bawuliriza be ab'olulango eyakubanga ennyo amasimu.

Olwokuba Bugingo yali afaayo okugoberera ebigenda mu maaso ku leediyo, abawuliriza baamulonda okubeera pulezidenti waabwe.

Olw'obujjumbize bwe mu mirimu gy'ekkanisa, Dr. Serwadda yasalawo okufuka ku Bugingo amafuta n'amulonda okuba omusumba. Kino kyava mu kubeera nti yali yeenyigira mu buli mulimu ate ng'afaayo okuyiga.

Mu kiseera ekyo leediyo ya Impact yali erina obuganzi naye abantu abangi abajjanga mu Ndeeba okubabudaabuda nga tewali muntu asobola kubakolako buli lunaku.

Bwatyo Bugingo yalondebwa n'aweebwa obuvunaanyizibwa bw'okubakolako buli lunaku kuba bapaasita abalala abakulu baalina emirimu emirala egibamalawo.

"Buli lwe nannyukanga ku mulimu mu minisitule y'ebyenjigiriza nga nkima Bugingo mu Ndeeba nga mmuzzaayo e Kazo- Bwaise gye yabeeranga. Teddy twamusangangayo ng'atulinze era nga tutuukira ku kacaayi," Buyondo bw'agamba.

BUGINGO YAGENDA YEKKA KU BUKO OKUMWANJULA

Buyondo agamba nti bwe yalaba nga Bugingo afuuliddwa Paasita yamugamba bagattibwe ne Teddy mu bufumbo obutukuvu.

Teddy yali mukazi wa mpisa, omukkakkamu ayaniriza abantu era wadde embeera gye baalimu teyali nnungi naye yalina okukkiriza nti lujja kukya lumu babeere bulungi.

Buli lwe wanyumyanga ne Bugingo ng'amuwaana era by'amwogerera mu kiseera kino biraga nti yandiba nga tali yekka.

"Bugingo yalonda nze okubeera beesitimaani we, olwokuba twali tukwatagana bulungi nga nange mmulabamu obujjumbize obw'enjawulo mu mirimu gy'eddiini," Buyondo bwe yagambye.

Yagasseeko nti kyokka ekyamwewuunyisa ye Bugingo okwesitula n'agenda yekka ku buko nga bagenda okumwanjula wadde nga baakimanyaako nti agenda kwanjulwa.

"Yatikka bulungi ebintu mu mmotoka ya Kibina n'endala ezaali zimuweereddwa n'agenda mu bazadde ba Teddy, era bwe yavaayo enkeera n'atutegeeza nga bwe yayanjuddwa mu bazadde ba Teddy eggulolimu. Kino kyatwewuunyisa wadde tetwakitwala wala kuba ye, Bugingo, yalaba nga kye kisaanidde" Buyondo bw'agamba.

MAAMA WA TEDDY YE YALABIRIRANGA BABUGINGO

Mu kiseera Bugingo we yawasiza Teddy embeera ye teyali nnungi mu byenfuna kuba yali atunda ngoye za mugugu mu butale bw'omubuulo.

"Maama yalingawo okulaba nga Babugingo balya, okunywa n'okukola ku byetaago ebirala," Buyondo bwe yagambye. Agamba nti kyamwewuunyisizza ate okuwulira Bugingo ng'anaabye ensonyi mu maaso avuma nnyina wa Teddy eyamubeererawo ng'akyali mu mbeera embi!

Yagambye nti Bugingo amumanyi nga omusajja amanyi okutijja era yayagala nnyo Teddy ne muwala we Doreen naye leero bw'awulira ng'abavuma n'okubalangira asigala yeewuunya ekyamutuukako.

Omwaka 2005 we gwatuukira nga Bugingo wa maanyi nnyo era n'atandika okufuna amalala agaamuggya ne ku mikwano gye.

BAJJA KWAWUKANA BUBI NE NANTABA

Buyondo yagambye nti akimanyi bulungi nti Bugingo ne bw'anaawasa Susan Makula Nantaba gw'atikiza naye kati, bajja kwawukana ate bubi nnyo: "Temulaba nti avuma Teddy n'amulangira, ate ebya Nantaba bijja kusukkawo nga baawukana".

Yalumirizza Bugingo nga bw'ali ow'akatijjo nga bw'ayagala omuntu amwagala nnyo ate bw'akyawa n'akyawa bubi. Ne Teddy bwe yali yaakamufuna nga tayogera bigambo bisatu nga tayogedde ku linnya Teddy.

Alumiriza nti bwe yatandika okulaba Bugingo ng'abuulira avumirira empeta yamanyirawo nti aliko ky'apanga, kuba aludde ng'aweta ebyawandiikibwa okusinziira ku kkubo ly'abeera avuga.

Era gye biggweeredde ng'ayagala kuwasa mukazi mulala.

Yanokoddeyo ebyawandiikibwa mu Malaki 2:14-16 awagamba nti; "Sikyawulira kusaba kwo, okoze ekivve ekirala. Obisse ekyoto kya Mukama n'amaziga olw'okukuluusanya omukazi ow'obuvubuka bwo".

"Bugingo agudde mu ppanci (eng'uumi), kuba essaala ze zoolekedde okuba nga tezikyawulirwa okusinziira ku byawandiikibwa," Buyondo bwe yakkaatirizza.

KYE KISEERA BUGINGO YEENENYE

Paasita Buyondo yawabudde Bugingo yeesonyiwe Nantaba kuba by'akoze naye bimala; "Bw'aneenenya Mukama ajja kumusonyiwa n'ensi ejja kumuddiramu" .

Embeera Bugingo mwe yafunira mukazi we nga talina ky'ali n'agumiikiriza kyokka oluvannyuma n'amusasulamu kuwasa Nantaba kiraga nti mu mbeera z'obuntu n'ebyawandiikibwa takyali Mulokole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...