TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obwenzi Polof. Bukenya yabutandika mu 1980 - Mukazi we

Obwenzi Polof. Bukenya yabutandika mu 1980 - Mukazi we

Added 16th May 2019

Muky. Bukenya alumiriza bba, Polof. Bukenya nti obwenzi yabutandika mu 1982/83 bwe yayenda ku muwala Teddy Ndagire ne bazaala omwana omu, omugenzi Capt. Brian Bukenya.

 Polof. Bukenya ne mukazi we

Polof. Bukenya ne mukazi we

 

Muky. Bukenya alumiriza bba, Polof. Bukenya nti obwenzi yabutandika mu 1982/83 bwe yayenda ku muwala Teddy Ndagire ne bazaala omwana omu, omugenzi Capt. Brian Bukenya.

Ekiwandiiko era kiraga nti mu gya 1990 nga giggwaako Polof. Bukenya yakwana omukazi omulala omugenzi Stella Njuba (muwala wa munnamateeka omugenzi Sam Kalega Njuba) n'amuzaalamu abaana babiri era nti yali yamuzimbira amaka e Bunnamwaya.

Ekiwandiiko era kiraga nti emyaka gya 2000 nga gitandika, bba era yayenda ku Margaret Kabasinguzi Nyabongo Akiiki ng'ono yali omu ku baamunoonyeza obululu n'okukunga abantu mu kitundu kye yali akiikiria ekya Busiro North nga yamuzaalamu omwana omu era ono nti yamuzimbira Fortportal.

Mu 2004 Bukenya yayagala Jamila Nakku ng'ono abeera mu maka agasangibwa e Nagulu, Lwantama, okusinziira ku kiwandiiko kino muka Bukenya kye yatutte mu kkooti. Ono amulumiriza n'okumwanjula mu bakadde be.

Okusinziira ku kiwandiiko kya Margaret Bukenya, mu mwaka 2008 Polof. Gilbert Bukenya yaganza eyali omukozi we mu ofiisi y'omumyuka wa Pulezidenti nga ye Shony Batanda ng'ono yamuzaalamu omwana ow'emyaka 8.

Wakati wa 2014 ne 2015 nti Gilbert Bukenya yayagala Justine Najjemba nga yamuzaalamu omwana wa myaka 4 era alina amaka e Namayumba Wakiso.

Polof. Bukenya yakwana n'omukazi omulala Josephine Nakafu naye eyali omukozi we era kuno yagasseeko abalala b'agamba nti bba, Bukenya, yabakolako obwenzi okuli omuyimbi Iryn Namubiru n'abalala nga bino bimuleetedde okuswala mu maaso g'abantu.

Muky. Bukenya agamba nti obwenzi buno ye kennyini azze abwerabirako kyokka nga ne bw'agamba bba okukyusaamu tamuwuliriza. Yawaddeyo ne bye yayise ebizibiti ebikakasa obwenzi buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...