TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baddereeva bakaayanidde ennamba omu n'atta munne

Baddereeva bakaayanidde ennamba omu n'atta munne

Added 17th May 2019

OLUTALO lwa takisi ku siteegi y’e Ntebe lusajjuse ddereeva bw'atomedde munne mu bukambwe n’amuttirawo.

 Omugenzi Mulindwa. Ku ddyo ye Wanda

Omugenzi Mulindwa. Ku ddyo ye Wanda

Ismail Mulindwa yaziikiddwa ku Lwokusatu ku kyalo Kasindye e Buwaya mu Wakiso oluvannyuma lw'okuttibwa ddereeva munne Ronald Wanda bwe bakolera ku siteegi y'e Ntebe.

Olutalo lwabadde Ntebe mu Kitoolo , omugenzi Mulindwa bwe yagaanye Wanda okutikka abasaabaze n'amulagira agoberere enkola yaabwe ey'okutikkira mu nnamba .

Wanda yakiwakanyizza n'amugamba nti tamulagira kuba talina kyali ku siteegi eyo.

Omugenzi yakutte mmotoka ya Wanda ku gaadi mu maaso n'amugamba aggyemu abasaabaze era mmotoka agizze emabega.

Wanda yakiwakanyizza n'amulagira ave ku mmotoka ye mangu . Wakati mu kuwaanyisiganya ebisongovu, Wanda yasimbudde mmotoka nga Mulindwa agyerippyeeko mu maaso.

Muganda w'omugenzi era naye nga ddereeva ku siteegi eno ayitibwa Rajab Lubwama yategeezezza nti Wanda yavuze mmotoka ng'agenda agiwetaaweta n'okugituusa mu luguudo ku misinde egya waggulu mu busungu.

Mulindwa yatendewaliddwa n'agwa mu maaso ga takisi eyabadde edduka n'emutomera n'afiirawo.

Wanda yagguddwaako ogw'okutta omuntu ku fayiro nnamba SD 49/14/05/2019 e Ntebe.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango yategeezezza nti ba mbega baabwe banoonyereza ekyabaddewo kyenyini kyokka nga dereeva eyatomedde bamulina era amateeka gagenda kulamula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...