TOP

Aba LDU bakubye owa LC kata bamutte

Added 17th May 2019

MANDE Mutabaazi 37, owaamawulire ku lukiiko lwa LC1 e Kirinnya Main anyiga biwundu, abaserikale b’eggye erikuuma ebyalo, aba LDU bwe baamukkakkanyeeko ne bamukuba emiggo egibuzeeko katono okumutwala emagombe.

 Mutabaazi ng’alaga ebiwundu bye yafunye ku mugongo. Ku ddyo bw’afaanana.

Mutabaazi ng’alaga ebiwundu bye yafunye ku mugongo. Ku ddyo bw’afaanana.

BYA TONNY KAYEMBA

Ono ali mu bulumi ng'ajjanjabibwa mu ddwaaliro lya Royal Health Medical Clinic e Kirinnya - Kavule mu Divizoni y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira ategeezezza nga bwe yabadde ava okukola ku ssaawa 4:00 ez'ekiro n'agwa mu ba LDU abaamukubye okubula okumutta.

Agamba nti yabadde ava wa mukama we, Richard mu Kireku gye bakola ogw'okuzimba ng'adda ewuwe e Kirinnya wabula aba atuuka ku wooteeri ya Rest Gardens abasajja bataano aba LDU ne bava mu nsiko gye baabadde beekwese nga bakutte emmundu ne kibooko ne bamusaba densite nga tagirina kwe kumuggyamu essaati gye yabadde ayambadde ne bagimusiba ku mimwa ne batandika okumukuba kibooko buli we basanze wabula abamu nga bagezaako okumutaasa naye ng'ababiri abamukuba tebabawuliriza era baayagadde n'okumukuba amasasi kyokka bannaabwe ne babagaana.

Ono yataasiddwa abaserikale ba poliisi abaabadde balawuna ekitundu era aba LDU olwabalabye ne bamuvaako ne beeyongerayo ng'abaserikale bano be baamututte ewa mukama we gye yabadde ava eyamututte mu ddwaaliro.

Yafunye ebisago mu mugongo olw'emiggo era alumizibwa mu mbiriizi ne mu kifuba nga n'okutuula tasobola.

Ssentebe w'ekitundu kino, Meddie Ssegawa Kafeero alaajanidde RDC w'e Kira, Joseph Muhoozi Ssekasamba okubataasa ku ba LDU abasukkiridde okukuba abantu nga kumpi buli lunaku babaako abantu be bakuba obubi.

Yasabye nabo bagoberere amateeka nga bakola omulimu gwabwe baleme kutabangula ddembe lya bitundu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...